YouVersion Logo
Search Icon

2 Samwiri 17

17
1Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Ka nnonde nno abasajja kakumi mu enkumi bbiri ng'olokoke ngoberere Dawudi ekiro kino: 2#2 Sam 16:14, 1 Bassek 22:31, Yok 11:50era naamutuukako ng'akooye n'emikono gye nga minafu ne mmutiisa: n'abantu bonna abali naye banadduka; era naakuba kabaka yekka: 3n'abantu bonna naabakomyawo gy'oli: omusajja gw'onoonya kyenkana bonna nga abakomyewo: kale abantu bonna baliba mirembe. 4Ekigambo ekyo Abusaalomu n'akisiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna.
5 # 2 Sam 15:34 Awo Abusaalomu n'ayogera nti Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire era ye ky'anaayogera. 6Awo Kusaayi ng'azze eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti Akisoferi ayogedde bw'atyo: tunaakola nga bw'ayogedde? oba nga si weewaawo, yogera ggwe. 7Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi. 8#Nge 17:12, Kos 13:8Era nate Kusaayi n'ayogera nti Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale: era kitaawo musajja mulwanyi, so talisula na bantu. 9Laba, kaakano yeekwese mu bunnya oba walala: awo olunaatuuka bwe wanaabaawo ku bo abamu abanaagwa olubereberye, buli anaawulira anaayogera nti Wabaddewo okuttibwa kungi mu bantu abagoberera Abusaalomu. 10Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋanga omutima gw'empologoma, aliyongoberera ddala: kubanga Isiraeri yenna bamanyi kitaawo nga musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira. 11#2 Sam 3:10Naye nze nkuwa amagezi okukuŋŋaanya gy'oli Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi; naawe mwene otabaale. 12Awo tulimusanga mu kifo w'alirabikira, naffe tulimugwako ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka: naye n'abasajja bonna abali naye tetulisigazaako n'omu. 13Era nate bw'aliba nga agenze mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu. 14#2 Sam 15:31,34Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi. Kubanga Mukama yali ataddewo okutta okuteesa okulungi okwa Akisoferi, Mukama alyoke aleete obubi ku Abusaalomu.
15 # 2 Sam 15:35,36 Awo Kusaayi n'agamba Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde amagezi Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri: nange mmuwadde amagezi bw'entyo ne bwe ntyo. 16#2 Sam 15:28Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti Tosula kiro kino ku misomoko egy'omu ddungu, naye tolema kusomoka; kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye. 17#2 Sam 15:27,36Era Yonasaani ne Akimaazi ne babeera ku Enerogeri; omuzaana n'agendanga n'ababuulira; ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: kubanga tebandiyinzise kulabika nga bayingira mu kibuga. 18Naye omulenzi n'abalaba n'abuulira Abusaalomu: ne bagenda bombi mangu ne bajja mu nnyumba ey'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. 19#Yos 16:6Omukazi n'addira ekisaanikizo n'akisaanikira ku kamwa k'oluzzi, n'afukako eŋŋaano ensekule; so tewaali kigambo ky'amanyibwa. 20Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba; ne boogera nti Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa? Omukazi n'abagamba nti Basomose akagga ak'amazzi. Awo bwe baamala okubanoonya ne batayinza kubalaba, ne baddayo e Yerusaalemi. 21Awo olwatuuka nga bamaze okugenda ne balinnya ne bava mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: ne bagamba Dawudi nti Mugolokoke musomoke amazzi mangu: kubanga gano ge magezi Akisoferi g'abasalidde. 22Awo Dawudi n'agolokoka n'abantu bonna abali naye ne basomoka Yoludaani: emmambya bwe yasala nga tekubuzeeko n'omu ku bo atannasomoka Yoludaani. 23#2 Sam 15:12, Mat 27:5Awo Akisoferi bwe yalaba nga tebakutte kigambo kyateesezza, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agolokoka n'addayo eka mu kibuga kye, n'alongoosa ennyumba ye, ne yeetuga; n'afa ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe.
24 # 2 Sam 2:8 Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu n'asomoka Yoludaani, ye n'abasajja ba Isiraeri bonna wamu naye. 25#2 Sam 19:13; 20:9,12, 1 Bassek 2:5,32, 1 Byom 2:13,16,17, 1 Byom 2:13,16,17Abusaalomu n'afuula Amasa omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Era Amasa yali mwana wa musajja erinnya lye Isira Omuisiraeri eyayingira eri Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu. 26Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27 # 2 Sam 15:27,36 Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu, 28ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike, 29#17:29n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya: kubanga baayogera nti Abantu balumiddwa enjala era bakooye era balumiddwa ennyonta mu ddungu.

Currently Selected:

2 Samwiri 17: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in