YouVersion Logo
Search Icon

2 Samwiri 1

1
1 # 1 Sam 30:17-20; 31:6 Awo olwatuuka Sawulo ng'amaze okufa, Dawudi ng'akomyewo ng'amaze okutta Abamaleki, era Dawudi ng'amaze ennaku bbiri e Zikulagi: 2#Yos 7:6, 2 Sam 14:4awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, laba, omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe: awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza. 3Dawudi n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Mponye mu lusiisira lwa Isiraeri. 4#1 Sam 4:16; 31:1,2,6, 2 Sam 4:10Dawudi n'amugamba nti Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira. N'addamu nti Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde nabo. 5Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Omanyira ku ki nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde? 6#1 Sam 31:3,4Omulenzi eyamubuulira n'ayogera nti Bwe nnali ndi awo ku lusozi Girubowa, laba, Sawulo ne yeesigama ku ffumu lye; awo, laba amagaali n'abeebagala embalaasi ne bamucocca. 7Awo bwe yakebuka, n'andaba n'ampita. Ne nziramu nti Nze nzuuno. 8N'aŋŋamba nti Ggwe ani? Ne muddamu nti Nze ndi Mwamaleki. 9#1 Sam 31:3,4N'aŋŋamba nti Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga obubalagaze bunkutte; kubanga obulamu bwange bukyali bulamu mu nze. 10Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu ng'amaze okugwa: ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe, n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbireese wano eri mukama wange. 11#Yos 7:6, 2 Sam 3:31; 13:31, Yob 1:20Awo Dawudi n'akwata engoye ze n'aziyuza; era bwe batyo abasajja bonna abaali naye: 12#1 Sam 31:13, 2 Sam 3:35ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga bagudde n'ekitala. 13Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Oli wa wa? N'addamu nti Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki. 14#1 Sam 12:3; 24:6; 26:9; 31:4Dawudi n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okutya okugolola omukono gwo okuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako amafuta? 15#2 Sam 4:10Dawudi n'ayita omu ku balenzi n'ayogera nti Sembera omugweko. N'amufumita n'afa. 16#Yos 2:19, 2 Sam 3:29, 1 Bassek 2:37, Mat 27:25, Luk 19:22Dawudi n'amugamba nti Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; kubanga akamwa ko ye mujulirwa gy'oli ng'oyogera nti Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
17 # 2 Sam 3:33, 2 Byom 35:25 Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we okukungubaga kuno: 18n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda (oluyimba) olw'omutego: laba, lwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.
19Ekitiibwa kyo, ai Isiraeri, kittiddwa ku bifo byo ebigulumivu!
Ab'amaanyi nga bagudde!
20 # Kuv 15:20, Balam 11:34; 14:3; 16:23,24, 1 Sam 31:9, Mi 1:10 Temukibuuliranga mu Gaasi,
Temukyatulanga mu nguudo za Asukulooni;
Abawala b'Abafirisuuti baleme okusanyuka,
Abawala b'abatali bakomole baleme okujaguza.
21 # Is 21:5 Mmwe ensozi za Girubowa,
Ku mmwe kuleme okubaako omusulo newakubadde enkuba, newakubadde ensuku ez'ebiweebwayo:
Kubanga eyo engabo ey'ab'amaanyi gye yasuulibwa obubi,
Engabo ya Sawulo, ng'ataafukibwako mafuta.
22 # 1 Sam 18:4 Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga nnyuma
Okuva ku musaayi gw'abattibwa,
ku masavu g'ab'amaanyi,
N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere.
23 # Yer 4:13, Kaab 1:8 Sawulo ne Yonasaani baali balungi era ba kusanyusa mu bulamu bwabwe,
Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa;
Baali ba mbiro okusinga empungu,
Baali ba maanyi okusinga empologoma.
24 # Ez 16:11 Mmwe abawala ba Isiraeri, mukaabire Sawulo,
Eyabambaza engoye ezitwakaala ez'okwesiima,
Eyayonja ebyambalo byammwe ne zaabu.
25Ab'amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!
Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu.
26 # 1 Sam 18:1,3 Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani:
Wansanyusanga nnyo nnyini:
Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo,
Nga kusinga okwagala kw'abakazi.
27 # 2 Sam 1:19 Ab'amaanyi nga bagudde,
N'ebyokulwanyisa nga bizikiridde!

Currently Selected:

2 Samwiri 1: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in