YouVersion Logo
Search Icon

2 Abakkolinso 6

6
1Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda 2#Is 49:8, Luk 4:19,21(kubanga ayogera nti
Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira,
Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba:
laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi): 3nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa; 4#2 Kol 4:2naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku, 5#2 Kol 11:23-27mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, mu kusiiba; 6#1 Tim 4:12mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi, 7#1 Kol 2:4mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; olw'ebyokulwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono, 8olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, olw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'abalimba, era naye ab'amazima; 9#2 Kol 4:10, Zab 118:18ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutattibwa; 10#Baf 4:12,13ng'abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.
11 # Zab 119:32 Akamwa kaffe kaasamiddwa eri mmwe, Abakkolinso, omutima gwaffe gugaziye. 12Temufunze mu ffe, naye mufunze mu myoyo gyammwe. 13#1 Kol 4:14Naye mulyoke munsasule bwe mutyo (mbabuulira ng'abaana bange), nammwe mugaziwe.
14 # Bef 5:11 Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza? 15Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omukkiriza n'atali mukkiriza? 16#1 Kol 3:16, Leev 26:12, Ez 37:27Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
17 # Yer 51:45, Ez 20:34,41, Is 52:11, Kub 18:4 Kale
Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama,
So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu;
Nange ndibasembeza,
18 # 2 Sam 7:8, Is 43:6, Yer 31:9; 32:38, Kos 1:10, Am 4:13 Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli,
Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala,
bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.

Currently Selected:

2 Abakkolinso 6: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in