YouVersion Logo
Search Icon

2 Abakkolinso 4

4
1 # 2 Kol 3:6, 1 Kol 7:25 Kale, kubanga tulina okuweereza okwo, nga bwe twasaasirwa, tetuddirira: 2#Bar 8:23naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda. 3Naye okubikkibwako oba ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula: 4#1 Kol 15:3Katonda ow'emirembe gino be yaziba amaaso g'amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw'enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira. 5#2 Kol 1:22, Bef 1:13, Bar 8:16,23Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. 6Kubanga Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.
7Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe; 8tutaayizibwa eruuyi n'eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so si kweraliikiririra ddala: 9tuyigganyizibwa, naye tetulekebwa; tumeggebwa, naye tetuzikirira; 10#1 Kol 15:31bulijjo nga tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe. 11#Bar 8:36Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa. 12Bwe kityo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu mu mmwe. 13#Zab 116:10Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti Nakkiriza, kyennava njogera: era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera; 14#1 Kol 6:14nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. 15#2 Kol 1:3-6Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo bwe kyeyongera olw'abangi kiryoke kyongezenga okwebaza Katonda aweebwe ekitiibwa.
16 # Bef 3:16 Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe ow'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo. 17#Bar 8:17,18Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n'emirembe; 18#Beb 1:3, Bef 2:2, 2 Bas 2:11, Bak 1:15ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Currently Selected:

2 Abakkolinso 4: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in