1 Samwiri 4
4
1 #
1 Sam 7:12
Ekigambo kya Samwiri ne kijjira Israeri yenna. Awo Abaisiraeri ne batabaala okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira ku bbali lya Ebenezeri: Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki. 2#Ma 28:25Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulwana n'Abaisiraeri: awo bwe baatuukaganako, Isiraeri n'akubibwa mu maaso g'Abafirisuuti: ne battira awo ku ggye lyabwe abasajja ng'enkumi nnya. 3#Yos 18:1, 1 Sam 3:3, 2 Sam 11:11Awo abantu bwe baatuuka mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne boogera nti Mukama atukubidde ki leero mu maaso g'Abafirisuuti? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga tugiggya mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ffe etulokole mu mukono gw'abalabe baffe. 4#Kuv 25:22, 2 Sam 6:2, Zab 80:1; 99:1Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano ya Mukama ow'eggye, atuula ku bakerubi: ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda. 5#Yos 6:5,20Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n'ewuumira ddala. 6Awo Abafirisuuti bwe baawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, ne boogera nti Eddoboozi eryo lye boogerera waggulu ennyo mu lusiisira lw'Abaebbulaniya amakulu gaalyo ki? Ne bategeera ng'essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira. 7Awo Abafirisuuti ne batya kubanga baayogera nti Katonda atuuse mu lusiisira. Ne boogera nti Zitusanze! kubanga obw'edda tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. 8#Yos 24:5, Kub 11:6Zitusanze! ani alitulokola mu mukono gwa bakatonda abo ab'amaanyi? be bakatonda abo abaabonyezabonyeza Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebitali bimu. 9#Balam 13:1, 2 Sam 10:12, 1 Kol 16:13Muddeemu amaanyi, mwerage obusajja, mmwe Abafirisuuti, muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya, nga bo bwe baabanga abammwe: mwerage obusajja, mulwane. 10#Leev 26:17, 1 Sam 4:2, 2 Sam 18:17; 19:8, Zab 78:8, Zab 78:62Awo Abafirisuuti ne balwana, Isiraeri n'akubibwa, ne baddukira buli muntu mu weema ye: ne waba olutta lunene nnyo; kubanga ku Baisiraeri ne kugwa abasajja abatambula n'ebigere obukumi busatu. 11#1 Sam 2:34, Zab 78:60,61,64Ssanduuko ya Mukama n'enyagibwa; batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa. 12#2 Sam 1:2 Omusajja wa Benyamini n'ava mu ggye n'adduka n'atuuka e Siiro ku lunaku olwo, engoye ze nga ziyulise n'ettaka nga liri ku mutwe gwe. 13#1 Sam 1:9Awo bwe yajja, laba, Eri ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'atunuulira: kubanga omutima gwe gwali gukankanira sanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga n'akibuulira, ekibuga kyonna ne kyogerera waggulu. 14Awo Eri bwe yawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, n'ayogera nti Eddoboozi ery'oluyoogaano luno amakulu gaalyo ki? Omusajja n'ayanguwa n'ajja n'abuulira Eri. 15#1 Bassek 14:4Era Eri yali nga yaakamaze emyaka kyenda mu munaana; n'amaaso ge gaali gayimbadde n'atayinza kulaba. 16#2 Sam 1:4Omusajja n'agamba Eri nti Nze nzuuyo eyavudde mu ggye, ne nziruka leero okuva mu ggye. N'ayogera nti Byali bitya, mwana wange? 17Awo oyo eyaleeta ebigambo n'addamu n'ayogera nti Abaisiraeri badduse mu maaso g'Abafirisuuti, era wabaddewo olutta olunene mu bantu, era ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa. 18#1 Sam 4:13Awo olwatuuka bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, n'agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mabbali g'omulyango, obulago bwe ne bukutukako n'afa: kubanga yali mukadde n'obuzito muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana. 19Awo muka mwana we, mukazi wa Finekaasi, yali lubuto ng'alitera okuzaala: awo bwe yawulira ebigambo nga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'akutama n'azaala: kubanga obulumi bwe bwamutuukako. 20#Lub 35:17Awo ng'anaatera okufa abakazi abaayimirira wali ne bamugamba nti Totya; kubanga ozadde omwana wa bulenzi. Naye n'ataddamu so teyassaayo mwoyo. 21#1 Sam 4:11; 14:3, Zab 26:8; 78:61, Yer 7:12N'atuuma omwana Ikabodi ng'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri: kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne kulwa ssezaala we ne bba 22N'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.
Currently Selected:
1 Samwiri 4: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: