Okubikkulirwa 13:14-15
Okubikkulirwa 13:14-15 EEEE
Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona. Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza.





