Abaggalatiya 2:15-16
Abaggalatiya 2:15-16 EEEE
Ffe mu buzaaliranwa tuli Bayudaaya so si Bamawanga aboonoonyi. Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.





