YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 10:13-14

Okuva 10:13-14 EEEE

Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; MUKAMA Katonda n’aleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige. Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna ey’e Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo ey’oluuyi olumu okutuuka ku y’oluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ng’ezo, era tezigenda kulabika.