Zekkaliya 3
3
1N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we.#1 Byom 21:1, Zab 109:6, Ezer 3:2 2Mukama n'agamba Setaani nti, “Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye, oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?”#Am 4:11, Yud 9 3Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika. 4N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti. “Mumwambulemu engoye ez'ekko.” N'agamba Yosuwa nti, “Laba, nkuggyeeko obubi bwo; nange nnaakwambaza ebyambalo eby'omuwendo.”#Is 6:7; 61:10, Luk 1:19; 15:22, Kub 7:14; 19:8 5Ne njogera nti, “ Bamusibe ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamusiba ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye;” malayika wa Mukama n'ayimirira awo.#Yob 29:14 6Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti, 7“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkukuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.#Leev 8:35, Ma 17:9 8Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go; kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange ayitibwa Ttabi.#Is 11:1; 42:1, Yer 23:5, Ez 12:11, Zek 6:12 9Kubanga, laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu.#Ez 3:10, Zek 2:9 10Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.”#2 Byom 16:9, Kag 2:3, Zek 3:9
Currently Selected:
Zekkaliya 3: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: