YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 10

10
1Musabe Mukama enkuba
mu biro ebya ddumbi,
Mukama akola ebire,
naye alibawa empandaggirize,
buli muntu afune ebirime.#Ma 11:14, Zab 135:7, Yer 14:22, Ez 34:26
2Kubanga amayembe googedde ebitaliimu
n'abalaguzi balabye obulimba;
ne boogera ebirooto eby'obulimba,
ne basanyusiza bwereere;
kyebaava bazuŋŋana ng'endiga,
babonaabona kubanga tewali musumba.#Lub 31:19, Yer 23:25, Ez 34:5,6, Kaab 2:18
3“Obusungu bwange buyimuse ku basumba,
era ndibonereza abakulembeze ba Yuda,
kubanga Mukama w'eggye ajja kulabirira ekisibo kye, ye nnyumba ya Yuda,
era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.#Ez 34:10,17
4Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery'oku nsonda,
muveemu n'enninga,
muveemu n'omutego ogw'akasaale,
muveemu na buli mufuzi yenna.#Zab 118:22, Is 22:23
5Nabo balibanga abasajja abazira mu lutalo,
abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo;
nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo,
n'abo abeebagala embalaasi baliswala.
6Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yuda,
ndiwonya ennyumba ya Yusufu.
nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde;
nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba;
kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.#Is 14:1
7N'aba Efulayimu balibeeranga omulwanyi omuzira,
n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge.
abaana baabwe balikiraba balisanyuka;
omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.
8Ndibayita ne mbakuŋŋaanya;
kubanga mbanunudde;
era balyala nga bwe babanga edda.#Is 5:26, Yer 31:11, Ez 36:10,11
9Newakubadde nga n'abasaasaanyiza mu mawanga,
era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala;
era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.#Ma 30:1-3, Ez 6:9
10Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri,
ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli;
era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni;
balijjula ensi ne watasigala bbanga.#Is 1:11; 49:20, Kos 11:11, Mi 7:14
11Baliyita mu nnyanja ey'okubonaabona,
amayengo mu nnyanja,
n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira;
Amalala ga Bwasuli galikkakkanyizibwa,
n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.#Is 11:15, Ez 30:13
12Nange ndibafuula b'amaanyi mu Mukama;
nabo balifuna ekitiibwa mu linnya lye;
bw'ayogera Mukama.”#Mi 4:5

Currently Selected:

Zekkaliya 10: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in