Zekkaliya 1
1
Obubaka n'okwolesebwa
(1:1—8:23)
Mudde gyendi nange nadda gye muli (1:1-6)
1Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti, 2“Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe.#Ezer 6:14, Nek 12:4,16, Kag 2:1,10 3Naye kaakano bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama.#Is 31:6, Yer 3:22, Mi 7:19, Mal 3:7 4Temuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baakoowoolanga nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, ‘Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi,’ naye ne batampulira era ne batampuliriza.#2 Byom 36:15,16, Zab 78:8, Zek 7:11 5Bajjajjammwe bali ludda wa? Ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna?#Yob 14:10, Yok 8:52 6Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? Ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.”#Ma 28:15, Is 40:8, Kung 2:17, Ez 36:31, Dan 9:6, Yob 1:7
Okwolesebwa okw'emirundi omunaana (1:7—6:15)
7Olunaku olw'abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogwo bufuzi bwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti, 8“N'atunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'emabega we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru.#Kuv 6:4 9Awo ne njogera nti, ‘Ayi mukama wange, ebyo biki?’ Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti, ‘Naakwolesa ebyo bwe biri.’#Kub 22:6 10Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti, ‘Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi.’#Yob 1:7, Beb 1:14 11Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti, ‘Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.’ 12Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti, ‘Ayi Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu (70)?’#Zab 80:4; 102:13, Yer 25:11; 29:10 13Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu.#Yer 29:11, Kub 6:10 14Malayika eyali ayogerera nange n'aŋŋamba nti, ‘Yogerera waggulu ng'ogamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi.#Yo 2:18, Zek 8:2 15N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo.’#Is 47:6 16Mukama kyava ayogera bw'ati nti, ‘Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.’#Ezer 6:14, Yer 31:39 17Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”#Is 40:1; 51:3
18Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana.#1 Bassek 22:11 19Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “ Ago maki?” N'anziramu nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.” 20Mukama n'anjolesa abaweesi bana. 21Ne njogera nti, “ Abo bajja kukola ki?” N'ayogera nti, “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.”#Zab 75:4,5
Currently Selected:
Zekkaliya 1: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: