Oluyimba 8
8
1Singa nno obadde mwannyinaze,
Eyayonka amabeere ga mmange!
Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde;
Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye.
2Nnandikuleese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange,
N'onjigiririza eyo okwagala;
Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa,
ne ku mubisi omusogole mu makkomamawanga.#Nge 9:2,5
3Omukono gwo ogwa kkono gwandibadde wansi w'omutwe gwange,
N'omukono gwe ogwa ddyo gwandimpambaatidde.#Lu 2:6,7
4Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi,
Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala,
Okutuusa we kunaayagalira.
Oluyimba olwomukaaga
Abakazi
5Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu,
Nga yeesigama ku muganzi we?
Omukazi
Nakuzuukusa wansi w'omucungwa:
Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala,
Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala.
6Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero,
ku mukono gwo ng'akabonero:
Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi;
Obuggya bwenkana amagombe obukambwe,
Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro,
Okwokya kwennyini okw'ennimi ezeememula.#Ma 4:24, Nge 6:34,35, Is 49:16, Bar 8:35
7Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala,
So n'ebitaba tebiyinza kukutta,
Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala,
Afuna kunyoomebwa kwoka.
Bannyina b'omukazi
8Tulina mwannyinaffe omuto,
Era tannamera bbeere.
Tulimukola tutya mwannyinaffe
Ku lunaku lwe balimwogererezaako?
9Mwannyinaffe oyo bwaba nga ekisenge,
Twalimuzimbyeko ekigo kya ffeeza,
Era singa yali nga luggi,
Twalimubisseeko embaawo ez'emivule.
Omukazi
10Ndi bbugwe, n'amabeere gange gali ng'eminaala gyakwo;
Ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng'omuntu aleeta emirembe.
Omusajja
11Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni;
Olusuku olwo nnalupangisa abalimi;
Buli muntu yasalirwa okusasula ebitundu ebya ffeeza lukumi (1,000); olw'ebibala byamu.#Is 7:23, Mat 21:33
12Olusuku olw'emizabbibu lwange,
olwange, lunaaba mu maaso gange;
Ggwe, Sulemaani, onoosigala n'olukumi lwo (1,000),
N'abo abakuuma ebibala byamu banasigaza bibiri (200).
13Ggwe abeera mu nnimiro,
Banno bawuliriza eddoboozi lyo,
Nange kandiwulireko.#Lu 1:7; 2:14; 5:1
Omukazi
14Yanguwa, muganzi wange,
Obeere ng'empeewo oba ennangaazi ento
Ku nsozi ez'eby'akaloosa.#Lu 2:17
Currently Selected:
Oluyimba 8: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.