Oluyimba 6
6
Abakazi
1Muganzi wo agenze wa,
Ggwe akira abakazi bonna obulungi?
Muganzi wo yeekyusiririza wa,
Tumunoonyeze wamu naawe?#Lu 1:8
Omukazi
2Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
mu nnimiro omuli ebimera egy'akaloosa,
Okulundira mu nnimiro eggana lye, n'okunogayo amalanga.#Lu 4:16
3Nze ndi wa muganzi wange,
ne muganzi wange wange:
Aliisizza ekisibo kye mu malanga.#Lu 2:16
Oluyimba olwokutaano
Omusajja
4Oli mulungi, ayi gwe njagala,
oli mulungi ng'ekibuga Tiruza,
oli mubaalagavu nga Yerusaalemi,
Wa ntiisa ng'eggye eririna ebendera.#Zab 50:2, Kung 2:15
5Nziggyaako amaso go,
Kubanga gampangudde.
Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi,
Ezigalamira ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi.#Lu 4:1-3
6Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga enkazi,
Ezirinnye okuva mu kunaazibwa;
Buli emu ku zo ng'ezzadde abaana abalongo,
So tekuli ku zo efiiriddwako n'emu. 7Amatama go galabika bulungi ng'ekkomamawanga erisaliddwamu awabiri;
Emabega w'olugoye lw'obisse ku maaso go.
8Waliwo bakabaka abakazi nkaaga (60), n'abazaana kinaana (80),
N'abawala abatamanyi musajja abatabalika.
9Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala,
ali omu yekka;
Mwana wa nnyina omu yekka;
Mulonde era nnyina gwasinga okwagala.
Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa;
Bakabaka abakazi n'abazaana baamulaba ne bamutendereza.
10Ani oyo atunula ng'emmambya,
Omulungi ng'omwezi,
Atangalijja ng'enjuba,
Ow'entiisa ng'eggye eririna ebendera?
11N'aserengeta mu nnimiro ey'ebinyeebwa eby'oku muti,
Okulaba ebisimbe ebibisi ebikulira mu kiwonvu,
Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza,
N'emikomamawanga oba nga gyanyizza.#Lu 7:12
12Nga sinnamanya emmeeme yange yajjula essanyu;
Nenfaanana ng'omuntu ali mu ggaali lya bakungu.
Abakazi
13Komawo, komawo, ggwe Omusulamu;
Komawo, komawo, tukulabe.
Omukazi
Kiki ekibaagaza okuntunuulira nze omuwala w'e Sulamu,
Ng'amazina wakati we bibinja ebibiri?
Currently Selected:
Oluyimba 6: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.