Luusi 1
1
Ebyagwa ku nnyumba ya Erimereki
(1:1-5)
Erimereki n'ab'omu maka ge basengukira e Mowaabu
1Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu Isiraeri, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'asengukira mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi.#Balam 2:16, 1 Sam 22:3,4, 2 Bassek 8:1 2N'erinnya ly'omusajja oyo lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we lyali Nawomi, n'amannya ga batabani be bombi gaali Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo.#Lub 35:19, 1 Byom 4:4, Mi 5:2 3Awo Erimereki bba Nawomi n'afa; ye n'asigalawo ne batabani be bombi. 4Ne bawasa ku bakazi Abamowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'owokubiri Luusi, ne bamalayo emyaka nga kkumi (10). 5Awo Maloni ne Kiriyoni ne bafa bombi; Nawomi n'afiirwa bba, n'abaana be bombi.
Nawomi akomawo e Besirekemu ng'ali ne Luusi (1:6-22)
6Awo Nawomi n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo nga ava mu nsi ya Mowaabu, kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yali ayambye abantu be, era nga abawadde ne mmere.#Kuv 3:16; 4:31, Zab 132:15, Luk 1:68 7Bw'atyo n'ava mu kifo mwe yali, ne baka baana be bombi, era ne batambula okuddayo mu nsi ya Yuda. 8Awo Nawomi n'agamba baka baana be bombi nti, “Muddeyo buli omu mu nnyumba ya nnyina, Mukama abakolere eby'ekisa nga mmwe bwe mwankolera nze n'abo abaafa.#Yos 2:12,14, Luus 2:20 9Mukama abawe omukisa mufumbirwe nate.” N'alyoka abanywegera ne bayimusa amaloboozi gabwe ne bakaaba nnyo amaziga.#Luus 3:1 10Ne bamugamba nti, “Nedda; naye tujja kugenda naawe eri abantu bo.” 11Nawomi n'abagamba nti, “Nedda, baana bange muddeyo, kiki ekibaagaza okugenda nange? Nkyasobola okuzaala abaana balyoke babeere ba bbammwe?#Ma 24:5, Ma 2:15 12Mukyuke, baana bange, mweddireyo, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyasobola kuba na musajja. Ne bwe nnandibadde n'omusajja ekiro kino ne nzaala abaana ab'obulenzi; 13mwandibalindiridde okukula balyoke babawase? Mwandiganidde ki okufumbirwa abasajja abalala? Nedda baana bange, nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga nze Mukama yambonereza.”#Balam 2:15, 1 Sam 5:9; 12:15 14Awo ne bayimusa nnyo amaloboozi gabwe, ne bakaaba nnyo amaziga nate. Olupa n'anywegera nnyazaala we n'amusiibula n'agenda. Naye ye Luusi n'amwesibako. 15Nawomi n'amugamba nti, “Laba muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katonda we, naawe ddayo ogoberere muggya wo.”#Kubal 21:29, 1 Bassek 11:7, 2 Bassek 23:13, Yer 48:13,46 16Awo Luusi n'ayogera nti, “Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera; kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze, era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze, abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange;#Luus 2:11,12, 2 Sam 15:21, 2 Bassek 2:2,4 17gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinziika. Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.”#1 Sam 3:17, 2 Sam 19:13, 1 Bassek 2:23, 2 Bassek 6:31 18Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n'asirika. 19Awo ne batambula bombi okutuuka e Besirekemu. Awo bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe. Awo ne beebuuzaganya nti, “Ddala ono ye Nawomi?” 20N'abagamba nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala,#1:20 Nawomi...Mala Mu Lwebbulaniya Nawomi kitegeeza omusanyufu, ate Mala, omunakuwavu. kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yandabya nnyo ennaku.#Kuv 15:23, Yob 27:2 21Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewaffe nga sirina kantu. Lwaki mumpita Nawomi nga ate Mukama Omuyinza w'ebintu byonna yandabya nnyo ennaku?”#Yob 1:21 22Bwe batyo Nawomi ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, ne bava e Mowaabu ne batuuka e Besirekemu, nga bakatandika okukungula sayiri.#Luus 2:23
Currently Selected:
Luusi 1: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.