YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 5

5
Essuubi eriva mu butuukirivu obw'okukkiriza
(5:1—8:39)
Okuba obulungi ne Katonda
1Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe ne Katonda mu Mukama waffe Yesu Kristo. #Bar 3:24,28; 4:24, Is 53:5 2Mu ye mwe twayita okufuna ekisa kino kye tuyimiriddemu; era tusanyuka mu kusuubira kwe tulina okw'okugabana ku kitiibwa kya Katonda. #Bef 3:12, Bar 3:23 3So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona kuleeta okugumiikiriza;#Yak 1:2,3, 1 Peet 1:5-7 4nate okugumiikiriza kuleeta empisa ennungi; n'empisa ennungi zireeta okusuubira: 5n'okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, mu Mwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa.#Zab 22:5; 25:20, Beb 6:18,19 6Bwe twali nga tukyali banafu, mu kiseera ekituufu Kristo naafiirira abatatya Katonda. 7Kizibu omuntu okufiirira omuntu omutuukirivu; oboolyawo mpozzi omuntu aguma okufiirira omuntu omulungi. 8Naye Katonda alaga okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.#Yok 3:16, 1 Yok 4:10 9Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, okusinga ennyo alitulokola okutuggya mu busungu bwa Katonda. #Bar 1:18; 2:5,8 10Kuba oba nga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, kaakano nga bwe tutabaganyiziddwa tulirokoka olw'obulamu bwe.#Bar 8:7 11Era si ekyo kyokka, era naye tusanyukira mu Katonda mu Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana okwo.
Adamu ne Kristo
12N'olwekyo ng'ekibi bwe kyajja mu nsi olw'omuntu omu, era n'okufa ne kuyingira olw'okwonoona, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona. #Lub 2:17; 3:19, Bar 6:23 13Kituufu ekibi kyaliwo mu nsi nga amateeka teganaweebwa, naye ekibi tekibalibwa, awatali mateeka.#Bar 4:15 14Kyokka okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja.#1 Kol 15:21,22,45,55 15Naye ekirabo eky'obuwa tekifaanana kwonoona. Kuba oba nga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, kisinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo eky'obuwa mu kisa ky'omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna mu bangi. 16Era ekirabo eky'obuwa tekifaanana n'ekyava mu kwonoona kw'omuntu omu, kubanga omusango ogwava mu kibi ekimu kwaleeta okusingibwa omusango, naye ekirabo eky'obuwa ekiva mu kwonoona okungi kireeta okuggyibwako omusango. 17Kuba oba nga olw'okwonoona kw'omu okufa kwafuga ku bw'omu, okusinga ennyo abo abaweebwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obuwa eky'obutuukirivu balifugira mu bulamu ku bw'oyo omu Yesu Kristo. 18Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna, bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu.#1 Kol 15:22 19Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafuuka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu.#Is 53:11 20Amateeka gajja, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira, ekisa ne kisinga okusukkirira.#Bar 4:15; 7:8, Bag 3:19 21Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, era n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu ne kituweesa obulamu obutaggwaawo, mu Yesu Kristo Mukama waffe. #Bar 6:23

Currently Selected:

Abaruumi 5: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in