YouVersion Logo
Search Icon

Abaruumi 14

14
Okwekuuma okwesittaza mugandawo
1Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye temumusalira musango olw'ensonga ezibuusibwabuusibwa. #Bar 15:1, 1 Kol 8:9 2Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna, naye atali munywevu alya nva zokka. #Lub 1:29; 9:3 3Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya, kubanga Katonda yamusembeza.#Bak 2:16 4Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? Eri mukama we yokka gyayinza okuyimiririra oba okugwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.#Mak 7:1, Yak 4:11,12 5Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka.#Bag 4:10 6Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe; n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda. 7Kubanga tewali muntu mu ffe eyeebeerera omulamu ku bubwe yekka, era tewali eyeefiira ku bubwe yekka. 8Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe; oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe, kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.#Bag 2:20, 1 Bas 5:10, Luk 20:38 9Kubanga Kristo kyeyava afa n'abeera omulamu, alyoke abeerenga Mukama w'abafu era n'abalamu. 10Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? Oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? Kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda.#Bik 17:31, 2 Kol 5:10, Mat 25:31,32 11Kubanga kyawandiikibwa nti,
“Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama,
buli vviivi lirinfukaamirira,
Na buli lulimi lulitendereza Katonda.” #Is 45:23; 49:18, Baf 2:10,11
12Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.#Bag 6:5
13Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka, naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba enkonge. 14Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kintu kya muzizo mu buwangwa bwakyo; wabula eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo.#Mat 15:11, Bik 10:15, Tit 1:15 15Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira.#1 Kol 8:11-13 16Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa,#Tit 2:5 17kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.#Luk 17:20 18Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima. 19Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.#Bar 12:18; 15:2 20Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala. 21Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesittazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya.#1 Kol 8:13 22Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'akakasa. 23Naye oyo abuusabuusa azza omusango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi. #Tit 1:15

Currently Selected:

Abaruumi 14: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in