YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 149

149
Okutendereza kw'abantu ba Mukama
1Mutendereze Mukama.
Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya,
N'ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.#Zab 33:3; 89:5
2Isiraeri asanyukire oyo eyamukola:
Abaana ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe.#Zab 103:20,21, Dan 7:10
3Batendereze erinnya lye nga bazina;
Bamutendereza nga bwe bakuba ebitaasa n'ennanga.#Kuv 15:20, 2 Sam 6:14
4Kubanga Mukama asanyukira abantu be;
Abawombeefu abawa obuwanguzi;#Zab 35:27; 147:11
5Abatukuvu bajagulize ekitiibwa;
Bayimbirenga olw'essanyu ku bitanda byabwe.#Yob 35:10, Zab 63:6
6Batendereze nnyo Katonda bwabwe,
bakwate ekitala eky'obwogi obubiri mu ngalo zaabwe;#Zab 66:17, Beb 4:12, Kub 1:16
7Okuwoolera eggwanga ku mawanga,
N'okubonyaabonya abantu;
8Okusiba bakabaka baabwe n'enjegere,
N'abakungu baabwe n'ebisiba eby'ebyuma;
9Babasalire omusango ogwabawandiikirwa;
Abatukuvu be bonna balina ekitiibwa ekyo.
Mutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 149: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in