Zabbuli 145
145
Zabbuli ey'okutendereza; eya Dawudi.
Okutendereza Katonda
1Nnaakugulumizanga, Katonda wange, era Kabaka wange,
Era nnaatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.#Zab 99:5; 146:2
2Buli lunaku nnaakutenderezanga,
Era nnaatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
3Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo,
N'obukulu bwe tebunoonyezeka.#Zab 48:1, Is 40:28
4Ab'omulembe ogumu bannaatenderanga oguddako ebikolwa byo,
bannaatendanga emirimu gyo egy'amaanyi.
5Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo,
Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo,
kwe nnaalowoozanga.
6Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa eby'amaanyi;
Nange nnaategeezanga obukulu bwo.#Zab 78:4
7Banaayogeranga ku bulungi bwo obungi obwatikirivu,
Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.#Is 63:7
8Mukama wa kisa ajjudde okusaasira;
Alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala okutaggwaawo.
9Mukama mulungi eri bonna;
N'okusaasira kwe okulungi kubuna byonna bye yatonda.#Zab 100:5, Mat 5:45
10Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, Ayi Mukama;
N'abatukuvu bo banaakutenderezanga.#Zab 19:1; 103:22
11Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo,
Banaantegezanga amaanyi go.
12Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi,
N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe.#Zab 105:1
13Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo,
N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.#Zab 10:16, Dan 4:34
14Mukama awanirira abagwa bonna,
Era ayimiriza abakutama bonna.#Zab 37:24; 146:8
15Amaaso g'ebintu byonna gakulindirira;
Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.#Zab 104:27,28
16Oyanjuluza engalo zo,
N'okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.
17Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna,
Era wa kisa mu mirimu gye gyonna.#Zab 116:5
18Mukama aba kumpi abo bonna abamukoowoola,
Bonna abamukoowoola mu mazima.#Ma 4:7, Zab 119:151, Yok 4:23,24, Yak 4:8
19Abaamutya abawa bye baagala,
Era anaawuliranga okukaaba kwabwe, n'abalokola.#Zab 31:22, Nge 10:24, Yok 9:31, 1 Yok 5:14
20Mukama akuuma abo bonna abamwagala;
Naye ababi bonna alibazikiriza.#Zab 97:10
21Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama;
Era ne byonna ebirina emibiri bye bazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe.#Zab 150:6
Currently Selected:
Zabbuli 145: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: