YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 141

141
Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba okukumibwa obutayonoona
1Mukama, nkukoowoola, yanguwa okujja gye ndi!
Ompulire nga nkukoowoola.#Zab 70:5
2Okusaba kwange kubeere ng'obubaani mu maaso go;
N'okugolola emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.#Kuv 29:41, Luk 1:10, 1 Tim 2:8, Kub 5:8
3Kuuma akamwa kange, Ayi Mukama,
Onkomeko bwe njogera.#Zab 34:13
4Tolekanga mutima gwange kukola kibi kyonna.
Okwemalira mu bikolwa ebibi,
Awamu n'abo abakola ebitali bya butuukirivu;
era nneme okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.#Zab 119:36, Nge 23:6, Mat 6:13
5Leka omutuukirivu ankube, oba annenye mu kisa,
Era tokkiriza amafuta go mubi okufukibwa ku mutwe gwange;
Kuba okusaba kwange tekukiriziganya na bikolwa byabwe ebibi.#Zab 109:4, Nge 9:8; 27:6, Mub 7:5
6Ababi bwe baliweebwayo eri ab'okubasalira omusango,
Ne balyoka bayiga nti, “Ekigambo kya Mukama kya mazima.”
7Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka,
N'amagumba gaabwe galisaasaanyizibwa ku mulyango gw'emagombe.#Zab 53:5
8Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, Ayi Mukama Katonda;
Nneesiga gwe, tondeka nga ssirina annyamba.#Zab 11:1; 25:15
9Onkuume eri omutego gwe banteze.
N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu.#Zab 140:5
10Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo,
Naye nze mpone.#Es 7:10, Zab 7:15,16

Currently Selected:

Zabbuli 141: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in