YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 123

123
Oluyimba olw'oku madaala.
Okusaba okusaasirwa
1Eri ggwe nnyimusa amaaso gange,
Ayi ggwe atuula mu ggulu.#Zab 2:4; 121:1
2Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe,
Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we,
N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
Okutuusa lw'alitusaasira.
3Otusaasire, Ayi Mukama, otusaasire:
Kubanga tunyoomebwa nnyo ddala.#Zab 4:1, Nek 4:4
4Emmeeme yaffe ejjudde nnyo ennaku,
Olw'okuduulirwa abo abalina emirembe,
N'okunyoomebwa abo ab'amalala.#Nek 2:19

Currently Selected:

Zabbuli 123: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in