Engero 29
29
1Omuntu bw'anenyezebwa emirundi emingi n'akakanyalira mu nsobi ye;
Alimenyeka nga tamanyiridde nga takyayinza kuwonyezebwa.#Nge 1:24-27; 6:15, Yer 19:11
2Abatuukirivu bwe beeyongera,
abantu basanyuka:
Naye omuntu omubi bw'afuga,
abantu basinda.#Es 3:15; 8:15, Nge 28:12,28
3Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe:
Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye.#1 Bassek 1:48, Nge 6:26; 10:1
4Kabaka anyweza ensi lwa bwenkanya;
Naye asaba enguzi agisuula.
5Omuntu awaanawaana munne
Aba amutega kitimba.#Zab 9:15, Nge 28:23
6Omuntu omubi, akwatirwa mu nsobi ze;
Naye omutuukirivu asanyuka n'ayimba.#Mub 9:12
7Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu:
Naye omubi talina kutegeera okugimanya.#Yob 29:16, Zab 41:1
8Abantu abanyooma basasamaza ekibuga:
Naye abantu ab'amagezi bakkakkanya obusungu.
9Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru,
Omusiru ne bw'asunguwala oba ne bw'aseka,
tewaba mirembe.
10Abantu abatemu, bakyawa atalina musango;
Naye omutuukirivu afuba okutaasa obulamu bwe.#Lub 4:5,8, 1 Yok 3:12
11Omusiru alaga obusungu bwe bwonna;
Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya.
12Omufuzi bw'awuliriza eby'obulimba,
Abakungu be bonna baba babi.
13Omwavu n'omujoozi balina ekibagatta:
Bombi Mukama y'abawa ekitangaala ne balaba.#Zab 13:3, Nge 22:2
14Kabaka asalira abaavu emisango mu bwenkanya,
Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.#Zab 72:2,4, Nge 16:12
15Omuggo n'okunenya bireeta amagezi:
Naye omwana alekebwa awo, aswaza nnyina.#Nge 10:1
16Ababi bwe baba mu buyinza, okusobya kweyongera:
Naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.#Zab 37:34; 91:8
17Kangavvulanga omwana wo,
anaakuleeteranga okuwulira essanyu,
Weewaawo, anaakweyagazanga.#Nge 13:24
18Awatali kwolesebwa,
abantu tebaba na kuziyizibwa:
Naye akwata amateeka alina omukisa.#Kuv 32:25, 1 Sam 3:1, Am 8:11,12, Yok 13:17, Yak 1:25
19Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo,
Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.
20Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye?
Omusiru wandibaako k'omusuubiramu.#Nge 26:12
21Alera omuddu we nga yeegendereza okuva mu buto,
Alimufuukira omwana ku nkomerero.#Nge 18:5, Ez 13:19
22Omuntu ow'obusungu awakula ennyombo,
N'ow'ekiruyi agwa mu nsobi nnyingi.#Nge 15:18
23Amalala g'omuntu galimusuula,
Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.#Zab 18:27, Nge 11:2; 15:33, Mat 23:12, Yak 4:6
24Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye:
Ne bwawulira ekikolimo, takwekula mazima.#Leev 5:1
25Oyo atya obuti abantu, yeesuula mu kabi;
Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.#Lub 12:12,13, Nge 18:10, Yok 12:42,43
26Bangi abaagala okuganja eri omukulu:
Naye obwenkanya buva eri Mukama.#Is 49:4
27Omuntu omubi akyayibwa abatuukirivu:
N'oyo akwata ekkubo eggolokofu akyayibwa ababi.
Currently Selected:
Engero 29: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: