YouVersion Logo
Search Icon

Engero 2

2
1Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange,
N'ewekuumanga ebiragiro byange,
2N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi
N'ossaayo omutima gwo okutegeera;
3Bw'onookabiranga okufuna okumanya,
Era nooyaayaaniranga okufuna okutegeera,
4N'onoonya amagezi nga ffeeza,
N'ogawenja ng'eby'obugagga ebyakwekebwa,
5Olwo lw'olitegeera okutya Mukama,
N'ovumbula okumanya Katonda.
6Kubanga Mukama y'agaba amagezi,
Ebigambo bye, bye bituwa okumanya n'okutegeera.#Yob 32:8
7Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu,
Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona;#Zab 84:11
8Alyoke akuume obwenkanya,
Era alabirire okutambula kw'abatukuvu be.#1 Sam 2:9
9Kale bw'olissa omwoyo ku bye nkugamba, lw'olitegeera obutuukirivu n'obwenkanya,
N'ebituufu, na buli kkubo eddungi.
10Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo,
N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo.
11Okuteesa kunaakulabiriranga.
Okutegeera kunaakukuumanga.#Nge 6:22
12Okukuwonyanga mu kkubo ebbi,
Eri abantu aboogera ebikyamya.
13Abaleka amakubo ag'obugolokofu,
Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza.#Zab 82:5, Yok 3:19,20
14Abasanyuka okukola obubi,
Era abawoomerwa ebibi.#Yer 11:15
15Amakubo gaabwe makyamukyamu,
N'engeri zaabwe za kwonoona.#Zab 125:5
16Oliwonyezebwa eri omukazi ow'empisa embi,
Agezaako okukusendasenda ne bigambo bye ebiwoomerevu.#Nge 7:5
17Aleka bba gweyafumbirwa mu buvubuka,
Ne yeerabira endagaano ya Katonda we.#Mal 2:14,15
18Kale okugenda mu nnyumba ye, kuba kugenda mu kufa,
Ekkubo erigenda ewuwe, likutwala magombe.#Nge 7:27
19Abagenda gyali tebadda,
Tebakomawo mu kkubo ery'obulamu.
20Gobereranga ekkubo ery'abasajja abalungi,
Otambulirenga mu kkubo ery'abatuukirivu.
21Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi,
N'abo abatuukirira balisigala omwo.#Zab 37:9
22Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi,
N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.#Zab 37:38; 52:5

Currently Selected:

Engero 2: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in