Engero 19
19
1Omwavu atambulira mu butayonoona bwe
Akira omulimba era omusiru.#Nge 28:6
2Si kirungi obutamala kulowooza;
N'oyo ayanguwa ennyo ng'atambula abula.
3Obusirusiru bw'omuntu bwe bumuleetera emitawaana;
Ate anyiigira Mukama.#Nge 14:20
4Obugagga buleetera omuntu emikwano mingi;
Naye omwavu ne gy'alina gimwabulira.
5Omujulirwa ow'obulimba talirema kubonerezebwa;
N'omulimba talibaako wawonera.#Nge 6:19; 21:28
6Bangi abagala okuganza omugabi,
Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo.
7Omwavu baganda be bonna bamukyawa:
Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala!
Akanda kubakoowoola, naye bo nga tebadda.#Nge 14:20
8Afuna amagezi yeeyagaliza ekirungi,
Anyweza okutegeera aliraba ebirungi
9Omujulirwa ow'obulimba talirema kubonerezebwa;
N'oyo alimba alizikirira.
10Okwejalabya tekusaanira musiru;
Era n'omuddu tasaanidde kufuga balangira.#Nge 30:21,22, Mub 10:6,7
11Okufumiitiriza okw'amagezi, kulwisaawo omuntu okusunguwala;
Era okusonyiwa ekisobye kye kitiibwa kye.#Nge 14:29, Bar 12:19, Bef 4:32
12Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma;
Naye okwagala kwe kuli ng'omusulo ogunnyikiza omuddo.#Zab 133:3, Nge 16:14,15; 20:2
13Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe:
N'okuyomba kw'omukazi ye nkuba etonnya olutata.#Nge 17:21; 27:15
14Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe:
Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.#Nge 18:22, 2 Kol 12:14
15Omugayaavu yeebaka otulo tungi;
N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala.#Nge 6:9-11; 20:4,13
16Akuuma ekiragiro aliba n'emirembe,
Naye atabissaako mwoyo alifa.#Nge 13:13, Luk 10:28
17Awa omwavu awola Mukama,
Era Mukama alimusasula olw'ekikolwa kye ekirungi.#Ma 15:7-11, Nge 12:14; 28:27, Luk 6:38, 2 Kol 9:6,8
18Kangavvulanga omwana wo, nga wakyaliwo essuubi;
So tomuleka kuzikirira.#Nge 13:24
19Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa:
Kubanga bw'olimuwonya kirikugwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogwokubiri.
20Sangayo omwoyo eri okubuulirirwa, okkirizenga okuyigirizibwa,
Olwo lw'olibeera n'amagezi gye bujja.
21Omuntu ateekateeka bingi mu mutima gwe okukola;
Naye Mukama by'ayagala, bye bituukirira.#Zab 33:10,11, Nge 16:9, Is 14:26,27
22Omuntu ekimwagaza kisa kye:
N'omwavu akira omulimba.
23Okutya Mukama kuleeta bulamu:
N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala;
Talijjirwa bubi.#Nge 10:16, 1 Tim 4:8
24Omugayaavu akoza emmere mu nva,
N'alemwa okugissa mu kamwa.#Nge 26:15
25Bonereza omunyoomi, atalina magezi ayige.
Era buulirira alina okutegeera,
Naye aneeyongera okutegeera.#Nge 9:8; 21:11
26Anyaga kitaawe n'agoba nnyina,
Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.
27Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa,
Okuleeta okukyama obukyami n'ova mu kumanya.#2 Peet 2:21
28Omujulirwa ow'obulimba anyooma obwenkanya,
N'abantu ababi, bawoomerwa okukola ebibi.#Yob 15:16
29Abanyoomi tebaliremwa kusingibwa musango;
N'abasiru tebaliremwa kubonerezebwa.#Nge 26:3, Yob 28:18
Currently Selected:
Engero 19: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: