Engero 15
15
1Okuddamu n'eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi;
Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu.#Balam 8:1-3, 1 Sam 25:10-13, 1 Bassek 12:13-16, Nge 15:15
2Ab'amagezi boogera, ebisaana;
Naye abasiru boogera bya busirusiru.#Nge 12:23
3Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo,
Nga galabirira ababi n'abalungi.#Yob 31:4, Nge 5:21, Yer 16:17, Zek 4:10, Beb 4:13
4Okwogera eby'ekisa, kuleeta obulamu;
Naye ebigambo eby'obukambwe, bikosa omutima.#Nge 11:3; 12:18
5Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe:
Naye omutegeevu, akkiriza okunenyezebwa.#Nge 13:18
6Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi:
Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku.
7Ab'amagezi bye boogera bibunyisa okumanya;
Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola.#Mat 12:34,35
8Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama:
Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira.#Nge 21:27; 28:9, Is 1:11,15; 66:3, Yer 6:20, Am 5:22
9Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama:
Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.#Nge 21:21, Is 51:1, 1 Tim 6:11
10Ava mu kkubo ettuufu, wa kukangavvulwa nnyo.
Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa.#Nge 12:1
11Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama:
Kale kiki ky'atamanyi mu mitima gy'abantu?#1 Sam 16:7, 2 Byom 6:30, Yob 26:6, Yok 2:24,25
12Omunyoomi tayagala kunenyezebwa:
Era tayagala kwebuuza ku ba magezi.
13Asanyuka mu mutima, ne ku maaso amwenya;
Naye obuyinike obw'omutima bwennyamiza omuntu.#Nge 12:25; 17:22
14Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya:
Naye abasiru, basanyukira mu butamanya bwabwe.#Nge 14:6
15Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi:
Naye oyo omusanyufu, aba ng'ali ku mbaga ey'olubeerera.
16Akatono akaliko okutya Mukama
Kasinga obugagga obungi obuliko obuyinike.#Zab 37:16, Nge 16:8, Mub 4:6
17Amaluma awali okwagalana
Gasinga okulya ebisava, awali okukyawagana.#Nge 17:1
18Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo:
Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka.#Nge 14:29; 29:22
19Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa:
Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo.
20Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe:
Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.#Nge 10:1, Nge 21:2; 24:12
21Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi:
Naye omuntu alina okutegeera atambulira mu butuukirivu.#Bef 5:15
22Awatali kuwabulwa, okuteesa kufa;
Naye awali abawabuzi abangi, ebiteesebwa birama.#Nge 11:14
23Okuddamu ekituufu, kusanyusa omuntu.
N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi!
24Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu,
Ne beewala eriserengeta mu kufa.#Bak 3:2
25Mukama alisuula ennyumba ey'ab'amalala;
Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu.#Zab 146:9, Nge 23:10
26Mukama tayagala birowoozo bya muntu mubi,
Naye asanyukira ebigambo by'omulongoofu.
27Ayaayaanira amagoba ag'obukumpanya, aleetera amaka ge emitawaana;
Naye akyawa enguzi, y'aliba omuwangaazi.#Yos 6:18; 7:25, Nge 1:19; 17:23
28Omuntu omutuukirivu, amala kulowooza nga tanaba kwanukula;
Naye omubi ayogera ebitasaana.#1 Peet 3:15
29Mukama aba wala ababi:
Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu.#Zab 145:18,19, Yok 9:31
30Okutunuza essanyu, kisanyusa omutima;
N'ebigambo ebirungi bireetera omuntu okweyagala.
31Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu
Kunaabeeranga mu b'amagezi.
32Agaana okubuulirirwa yeefiiriza yekka.
Naye oyo akkiriza okunenyezebwa, afuna okutegeera.#Nge 8:33,36
33Okutya Mukama, kuyigiriza omuntu amagezi;
Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.#Nge 1:7; 18:12; 29:23
Currently Selected:
Engero 15: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: