Obadiya 1
1
Okulaga okusooka omusango eri Edomu
(1-4)
Okubonerezebwa kwa Edomu
1Okwolesebwa kwa Obadiya.
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ebikwata ku Edomu nti, Tuwulidde ebigambo ebiva eri Mukama, n'omubaka atumiddwa eri amawanga nga agamba nti, “ Musituke! Tusituke tumulwanyise mu lutalo!”#Yer 49:7-22, Ez 25:12-14 2Laba, ndikufuula eggwanga ettono, erinyoomebwa ennyo mu mawanga. 3Amalala ag'omu mutima gwo gakulimbye, ggwe abeera mu mpampagama ez'olwazi, ggwe abeera eyo waggulu; ayogera mu mutima gwe nti, “Ani alimpanulayo eno n'anzisa wansi?” 4Newakubadde ng'otuumbiira waggulu ng'empungu era ekisu kyo ne kiba ng'ekiri wakati mu munnyeenye, n'eyo ndikuwanulayo ne nkussa wansi, bw'ayogera Mukama.
Okulaga okwokubiri omusango eri Edomu (5-7)
5Singa ababbi bajja gyoli, singa abanyazi bajja ekiro, nga wandibadde ozikirizibbwa! Tebandibbyeko ebyo ebibamala? Singa abakuŋŋanya ezabbibu bajja gyoli, tebandireseeko ezimu?#Yer 49:9,10 6Ebya Esawu nga binyagiddwa! Eby'obugagga bwe nga bivumbuddwa! 7Abantu bonna abaakolagananga naawe bakugobedde ku nsalo; abo bemukkanya nabo bakuwangudde; mikwano gyo beewesiga bakutegedde akatego, tewali kutegeragana.#Zab 41:9
Okulangirira omusango, okuloopa n'okulabula Edomu (8-15)
8Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama sigenda kuzikiriza abagezigezi okuva mu Edomu, n'okutegeera okuva mu lusozi lwa Esawu?#Is 29:14, Ez 35:2,9,10 9Era abasajja bo abazira, bagenda kwewuunya, ggwe Temani, era abantu bonna okuva ku lusozi lwa Esawu bagenda kuggibwawo ne kitala.#Am 1:2
Ensonga ebonerezesa Edomu
10Olw'obukambwe obwakolebwa ku muganda wo Yakobo, olijjula ensonyi era oliggibwawo emirembe gyonna.#Kubal 20:20,21 11Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunnaku abayise lwe baanyaga ebintu bye, ne bannamawanga ne baayingira mu nzigi ze eza wankaaki, ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe wafaanana ng'omu ku abo.#2 Bassek 25:10-20, Zab 137:7, Yo 3:3 12Naawe tewanditunuulidde na ssanyu lunaku lwa mugandawo, olunaku olw'okugwirwako akabi, era tewandisanyukidde lunaku olw'okuzikirira kw'abantu ba Yuda; tewandikudaalidde lunaku olw'obuyinike bwabwe.#Mi 4:11; 7:8 13Tewandiyingidde mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku lwe balabiramu ennaku; so naawe tewandikudaalidde kubonaabona kwabwe lunaku kwe balabira ennaku, era tewandinyazze bintu byabwe ku lunaku lwe balabiramu ennaku. 14Tewandiyimiridde mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawonawo; era tewandiwaddeyo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi. 15Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna, nga bwe wakola bwe kityo naawe bwe kirikukolebwa; byonna by'okola biridda ku mutwe gwo.#Ez 35:15, Yo 1:15, Kaab 2:8
Okusuubiza Obuwanguzi eri Isiraeri (16-18)
16Kubanga nga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga; weewaawo, ganaanywanga ne gatagatta era galiba ng'agatabangawo.#Yer 25:27,28
17Naye ku lusozi Sayuuni kulibaako abaliwona, era luliba lutukuvu; n'ennyumba ya Yakobo ery'etwalira ebintu byalyo.#Yo 2:32, Am 9:8,12 18Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro; n'ennyumba ya Esawu eriba ssubi; baalibokya nabo balyaka, balibazikiririza ddala; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde.#Is 10:17, Zek 12:6
Okusuubiza okuzzaawo obwakabaka bwa Yaawe (19-21)
19Abo abe Negebu balyetwalira olusozi, nabo abe Sefala balitwala ensi y'Abafirisuuti; balitwala ensi ya Efulayimu, n'ensi ey'e Samaliya era Benyamini alitwala Gireyaadi.#Yer 17:26 20N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abawaŋŋangukira mu Bakanani, balidda ne bawangula ensi ya Fonisiya okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu ggye ly'abo abawaŋŋangukira mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, baliwamba ebibuga eby'obukiikaddyo obwa Yuda.#1 Bassek 17:9, Luk 4:26 21Era abanunuzi balirinnya ku lusozi Sayuuni bafuge olusozi lwa Esawu; n'obwakabaka buliba bwa Mukama.#Zab 22:28, Is 19:20, Luk 1:33, 1 Kol 15:24, Kub 11:15; 19:6
Currently Selected:
Obadiya 1: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: