Okubala 32
32
Ebika bya Isiraeri ebyasenga ebuvanjuba bwa Yoludaani
1Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo ddala. Awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi nga nnungi okulundiramu ensolo;#Kubal 21:32 2ebika byombi, ne bigenda eri Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu ne babagamba nti,#Kubal 21:23,24,33-35 3“Atalisi, Diboni, Yazeri, Nimula, Kesuboni, Ereale, Sebamu, Nebo ne Beoni, 4ensi Mukama gye yawangula mu maaso g'ekibiina kya Isiraeri, nsi nnungi nnyo okulundiramu ensolo, ate naffe abaweereza bo tuli balunzi ba nsolo.” 5Ne boogera nti, “Tusaba tuweebwe ensi eno okuba obutaka bwaffe, tuleme kusomoka Yoludaani.” 6Musa n'addamu abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti, “Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga musigadde wano? 7Lwaki mwagala okuterebula baganda bammwe okubalemesa okusomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa? 8Ekyo ne bakitammwe kye baakola, bwe n'atuma abakessi okuva e Kadesubanea okugenda okuketta ensi.#Kubal 13:3,21-33 9Kubanga bwe batuuka mu kiwonvu Esukoli ne baketta ensi; bwe badda Abaisiraeri ne baterebuka. 10Mukama n'abasunguwalira nnyo ku lunaku olwo, n'alayira ng'agamba nti,#Kubal 14:23,24,29,30, Ma 1:34-36 11‘Mazima tewaliba n'omu ku basajja abaava e Misiri awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, aliyingira mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo, kubanga tebaneesize, 12okuggyako Kalebu, mutabani wa Yefune Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni: kubanga abo baneesigidde ddala.’ 13Mukama n'alyoka abonereza abaana ba Isiraeri n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka ana (40), okutuusa ab'ezadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baggweerawo ddala.#Kubal 14:33; 26:64,65 14Nammwe, okufaanana bakitammwe, mwagala okukola ebibi, Mukama asunguwalire Isiraeri nate. 15Kubanga bwe munaamujeemera, anaabaleka nate omulundi ogwokubiri mu ddungu, nammwe munaaletera abantu bano bonna okuzikirizibwa.”#Yos 22:16,18 16Naye abaana ba Gaadi n'aba Lewubeeni ne baddamu Musa nti, “ Katusooke tuzimbire ensolo zaffe ebiraalo, n'abaana baffe abato ebibuga. 17Oluvannyuma ffe bennyini tunaakwata eby'okulwanyisa, netukulembera abaana ba Isiraeri, okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu butaka bwabwe bo, naye abaana baffe abato basigale mu bibuga ebigumu, ebiriko enkomera, olw'okwerinda abantu ab'omu nsi eno.#Yos 4:12,13 18Tetulikomawo mu nnyumba zaffe, okutuusa abaana ba Isiraeri bwe balimala buli muntu okufuna obutaka bwe.#Yos 22:4 19Ffe tetulifuna mugabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo, kubanga obusika obwaffe tumaze okubufuna eno emitala, ebuvanjuba wa Yoludaani.”#Yos 12:1-6; 13:8 20Musa n'abagamba nti, “Bwe munaakola nga bwe mwogedde, ne mukwata eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama ne mugenda okutabaala,#Ma 3:12,16-18, Yos 1:13-15; 4:12-13; 22:4,9 21era buli alina eby'okulwanyisa bw'anasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama okutuusiza ddala Mukama lwaliwangula abalabe be; 22oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, era temulibaako musango eri Mukama, n'eri Isiraeri, olwo ensi eno eneebanga obutaka gye muli mu maaso ga Mukama. 23Naye bwe mutaakole nga bwe mwogedde, nga mwonoonye Mukama era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga.#Lub 44:16, Zab 140:11 24Nga bwe mugambye mugende muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'ensolo zammwe.”#Kubal 32:16,34-38 25Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Mukama waffe, abaweereza bo banaakolanga bw'olagidde. 26Abaana baffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonna binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi:#Yos 1:14 27Naye abaweereza bo banaasomoka, buli musajja nga akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama okutabaala, nga ggwe mukama waffe bw'oyogedde.”#Yos 4:12,13
28Awo Musa ebigambo ebyo eby'abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'abiragira Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'ebika by'Abaisiraeri. 29Musa n'abagamba nti, “Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja ng'akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama, ne muwangula ensi; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka bwabwe. 30Naye bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, obutaka bwabwe buliba wamu n'obwammwe mu nsi ya Kanani.” 31Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Nga Mukama bw'agambye abaddu bo, bwe tutyo bwe tunaakola. 32Tunaasomoka nga tukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama okuyingira mu nsi ya Kanani okulwana, naye obutaka bwaffe bulibeera eno ebuvanjuba bwa Yoludaani.” 33Musa n'awa abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, mutabani wa Yusufu, obwakabaka obwali obwa Sikoni, kabaka w'Abamoli, n'obwali obwakabaka bwa Ogi, kabaka w'e Basani, ensi n'ebibuga byamu nga bwe byali, n'ebitundu ebyetoolodde wo.#Ma 3:12,13 34Abaana ba Gaadi ne bazimba ebibuga ebiriko enkomera: Diboni, Atalosi, Aloweri;#Kubal 32:3,24 35Aterosisofani, Yazeri ne Yogubeka; 36ne Besunimira ne Besukalaani; ne bazimba n'ebisibo by'endiga. 37Abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni, Ereale ne Kiriyasayimu; 38Nebo, ne Baalumyoni, nga bakyusizza amannya gaabyo. Ne bazimba ne Sibima. Ebibuga ebyo bye baazimba, ne babituuma amannya amalala.#Kuv 23:13, Yer 48:23 39Abaana ba Makiri mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi, ne balwanyisa Abamoli abakirimu, bo ne batuula omwo.#Kuv 23:13, Lub 50:23 40Musa n'awa Makiri mutabani wa Manase ensi eya Gireyaadi; n'abeera omwo.#Ma 3:13,15, Yos 17:1 41Yayiri mutabani wa Manase, n'agenda n'alumba ebimu ku byalo by'Abamoli n'abiyita Kavosuyayiri.#Ma 3:14, Yos 13:30, Balam 10:4 42Noba n'alumba Kenasi, n'ebyalo byakyo, n'akituuma Noba, ng'erinnya lye ye bwe lyali.
Currently Selected:
Okubala 32: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: