YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 21

21
Isiraeri awangula abakanani
1Kabaka Omukanani, ow'e Yaladi, ekiri mu bukiikaddyo, n'awulira nga Isiraeri ajjira mu kkubo ery'e Asalimu; n'alwana ne Isiraeri n'awamba abamu ku bo.#Kubal 13:21,22 2Isiraeri ne yeeyama obweyamo eri Mukama, n'agamba nti, “Bw'onoogabulira ddala abantu bano mu mukono gwange, ndizikiririza ddala ebibuga byabwe.”#Leev 27:28,29 3Mukama n'awulira eddoboozi lya Isiraeri, n'agabula Abakanani mu mukono gw'Abaisiraeri. Abaisiraeri ne babazikiririza ddala, bo n'ebibuga byabwe. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.#21:3 Koluma Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Kuzikirizibwa”
Musa akola omusota ogw'ekikomo
4Ne basitula okuva ku lusozi Kooli ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa nnyo olw'olugendo.#Kubal 33:41, Balam 11:18 5Abantu ne beemulugunyiza Katonda ne Musa nga bagamba nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okutuleeta okufiira mu ddungu? Temuli mmere, so temuli mazzi; n'okwetamwa twetamiddwa eky'okulya kino ekyangu.”#Kuv 16:3; 17:3, Kubal 11:6 6Mukama n'asindikira abantu emisota egy'obusagwa, ne gibabojja; Abantu bangi ku Baisiraeri ne bafa. 7Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti, “Twonoonye kubanga twemulugunyiza Mukama naawe; saba Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n'asabira abantu.#Kuv 8:8,28, 1 Sam 12:19, 1 Bassek 13:6 8Mukama n'agamba Musa nti, “Weekolere omusota ogw'ekikomo, oguteeke ku mulongooti; awo olunaatuuka, buli abojjeddwa bw'anagutunulako, anaawona.” 9Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguteeka ku mulongooti, awo olwatuuka omusota bwe gwabanga gubozze omuntu yenna, bwe yatunuuliranga omusota ogw'ekikomo, ng'awona.#2 Bassek 18:4, Yok 3:14,15
Okuva ku lusozi Kooli okutuuka mu kiwonvu ky'e Mowaabu
10Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu Obosi. 11Ne basitula e Obosi ne batambula ne basiisira mu Iyeabalimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku luuyi olw'ebuvanjuba. 12Ne bavaayo, ne batambula, ne basiisira mu kiwonvu kya Zeredi. 13Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala w'omugga Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamoli; kubanga Alunoni ye nsalo wakati wa Mowaabu, n'Abamoli.#Balam 11:18 14Kyekyava kyogerwa mu Kitabo eky'Entalo za Mukama nti,
“Wakebu ekya Sufa
N'ebiwonvu bya Alunoni,
15N'ebikko eby'ebiwonvu
Ebiserengetera eri ennyumba za Ali,
Era ebyesigama ku nsalo ya Mowaabu.”
16Ne bavaayo ne batambula ne bagenda e Beeri; olwo lwe luzzi Mukama lwe yabuulirako Musa nti, “Kuŋŋaanya abantu, nange n'abawa amazzi.” 17Isiraeri n'alyoka ayimba oluyimba luno:
“Weesere, ggwe oluzzi; muluyimbire;
18Oluzzi abakulu lwe baasima,
Abakungu b'abantu lwe baayerula,
N'omuggo ogw'obwakabaka, n'emiggo gyabwe.”
Ne bava mu ddungu ne batambula ne bagenda e Matana: 19ne basitula e Matana ne bagenda e Nakalieri: ne basitula e Nakalieri ne bagenda e Bamosi: 20ne basitula e Bamosi ne bagenda mu kiwonvu ekiri ku ttale lya Mowaabu, ku ntikko ya Pisuga, kw'oyima okulengera eddungu.#Kubal 23:28, 1 Sam 23:19,24; 26:1,3
Isiraeri awangula bakabaka Sikoni ne Ogi
21Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni, kabaka w'Abamoli ng'ayogera nti,#Ma 2:26-27, Balam 11:19 22“ Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo.#Kubal 20:17 23Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsi ye; naye n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna n'alumba Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi n'alwana nabo.#Ma 2:32 24Isiraeri n'alwana n'amaanyi n'amuwangula n'awamba ensi ye, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku Yabboki, n'okutuusizza ddala ku baana ba Amoni; kubanga ensalo y'Abamoni yali ekuumibwa n'amaanyi.#Ma 2:33, Yos 12:1,2, Nek 9:22 25Isiraeri n'atwala ebibuga by'Abamoli byonna, omuli ne Kesuboni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu. 26Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Alunoni. 27Aboogerera mu ngero kyebaava boogera nti,
“Mujje e Kesuboni,
Ekibuga kya Sikoni kizimbibwe, kinywezebwe:
28Kubanga omuliro gufulumye mu Kesuboni,
Ennimi z'omuliro mu kibuga kya Sikoni:
Gwokezza Ali ekya Mowaabu,
Abakungu ab'ebifo ebigulumivu ebya Alunoni.#Is 15:1, Yer 48:45
29Zikusanze, Mowaabu!
Mufudde, mmwe abantu ba Kemosi:
Agabudde batabani be okuba abadduse,
Ne bawala be okuba abasibe,
Eri Sikoni kabaka w'Abamoli.#1 Bassek 11:7,33, Yer 48:7,46
30Twabasimbako;
Kesuboni kyazikirira okutuuka ku Diboni,
Era twazisa okutuuka ku Nofa,
Ekituuka ku Medeba.”#Is 15:2
31Isiraeri n'atuula bw'atyo mu nsi y'Abamoli. 32Musa n'atuma okuketta ekibuga Yazeri, n'obubuga obwali bukyetoolodde ne babiwamba, ne bagobamu Abamoli abaalimu. 33Abaisiraeri ne bakyuka ne bambukira mu kkubo ly'e Basani; Ogi kabaka w'e Basani n'abalumba n'eggye lye lyonna n'abalwanyisiza e Derei. 34Mukama n'agamba Musa nti, “Tomutya, kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni.”#Ma 3:2 35Awo ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, ne watasigalawo n'omu, ne batwala ensi ye.#Ma 3:3,4, Nek 9:2

Currently Selected:

Okubala 21: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in