Okubala 19
19
Evvu ly'ente enduusi eya lukunyu
1Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 2“Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti, Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, era eteteekebwangako kikoligo.#Ma 21:3, 1 Sam 6:7 3Munaagiwanga Eriyazaali kabona, naye anaagifulumyanga ebweru w'olusiisira, ne bagittira mu maaso ge. 4Awo Eriyazaali Kabona, anannyikanga engalo ye mu musaayi n'agumansira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu.#Leev 4:6,17 5Ente yonna: eddiba lyayo, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, binaayokebwanga mu maaso ga Eriyazaali kabona.#Kuv 29:14, Leev 4:11,12 6Kabona n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu, n'abisuula wakati ente w'eyokerwa.#Leev 14:4 7Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye era kabona n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.#Leev 15:5; 16:28 8N'omuntu anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, naye era n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 9N'omuntu omulongoofu anaayoolanga evvu ly'ente, n'alitereka ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era linaakuumirwanga ekibiina ky'abaana ba Isiraeri okuba amazzi ag'okwawula: ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi.#Leev 6:11 10N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era lino linaabanga etteeka ery'olubeerera eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo.”
Etteeka ery'okukoma ku mulambo
11“Omuntu yenna anaakomanga ku mulambo gw'omuntu, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu: 12Omuntu oyo aneerongoosanga n'amazzi ku lunaku olwokusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu, n'alyoka aba omulongoofu; naye bw'anaalemanga okwerongoosa ku lunaku olwokusatu, ne lunaku olw'omusanvu olwo taabenga mulongoofu.#Kubal 31:19 13Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ayonoona ennyumba ya Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu Isiraeri. Anaabeeranga si mulongoofu kubanga teyamansirwako mazzi ag'okwetukuza.#Leev 15:31; 22:3
14“Lino lye tteeka erikwata ku muntu afiira mu weema: buli muntu anaabanga mu weema omwo, n'oyo anaayingirangamu, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. 15Buli kintu kyonna ekiri mu weema eyo ekyasaamiridde, nga si kisaanikireko, kinaabanga ekitali kirongoofu. 16Na buli anaakomanga ku mulambo ogw'omuntu eyattirwa ku ttale n'ekitala, oba afudde yekka, oba ku ggumba ly'omuntu oyo, oba ku malaalo ge anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
17“Okuggyawo obutali bulongoofu bw'omuntu oyo, banaatoolanga ku vvu ery'ekiweebwayo ky'ente eya lukunyu eyayokebwa olw'okutukuza, ne baliteeka mu kibya, ne baliyiwamu amazzi agaggyiddwa mu mugga ogukulukuta.#Beb 9:13 18Omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba, oba ku oyo eyattibwa, oba eyafa yekka, oba ku malaalo.#Kuv 12:22, Zab 51:7 19Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu omuntu oyo omulongoofu anaamansiranga amazzi ag'okutukuza ku oyo atali mulongoofu. Oyo atali mulongoofu ku lunaku olw'omusanvu anaayozanga engoye ze n'anaaba n'amazzi n'alyoka abeera omulongoofu akawungeezi.#Leev 14:9
20“Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, ayonoona awatukuvu wa Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abaana ba Isiraeri. 21Era lino linaabanga tteeka gyebali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okutukuza anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okutukuza anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako, kinaabanga ekitali kirongoofu; n'omuntu omulala yenna anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”#Kag 2:13, Ma 23:7
Currently Selected:
Okubala 19: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: