Okubala 15
15
Eby'okuwangayo nga bali mu nsi ye Kanani
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye mbawa okutuulamu 3era bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama, ku nte oba ku ndiga; ekiweebwayo n'omuliro, n'ekiweebwayo ekyokebwa, oba ssaddaaka okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira oba okuwaayo ku mbaga zammwe ezaalagirwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama;#Kuv 29:18, Leev 1:2,3,9; 22:21; 23:4 4kale oyo anaawangayo ekiweebwayo kye, anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo eky'obutta eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa, ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya ini ey'amafuta.#Kuv 29:40, Leev 2:1 5Buli mwana gw'endiga ogunaawebwangayo ng'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka endala yonna, oyo awaayo anaaleterangako envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu ekyokuna ekya ini. 6Bwanaawangayo endiga ennume, anaaleterangako ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta;#Kubal 28:12, Yos 5:11,12 7Ku kiweebwayo eky'okunywa anaawangayo ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'envinnyo ey'akawoowo eri Mukama.#Kubal 28:14 8Era bw'anaaleetanga ente okuba ekiweebwayo ekyokebwa oba okuba ssaddaaka okutuukiriza obweyamo, oba okuba ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama;#Leev 7:11 9anaaleterangako ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bisatu eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi, obutabuddwamu ekitundu kya ini ey'amafuta.#Kubal 28:12 10Era anaaleterangako ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu kya ini ey'envinnyo ey'akawoowo eri Mukama.”#Kubal 28:14
11“Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku buli nte, oba ku buli ndiga ennume, oba ku buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi. 12Obungi bw'ebintu ebyo ebigenderako buneeyongeranga okusinziira ku bungi bw'ensolo ze munaategekanga okuwaayo. 13Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 14Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo. 15Mu kibiina, wanaabangawo etteeka limu gye muli, n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe, etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna; nga mmwe bwe muli, n'omugenyi bw'anaabanga bw'atyo mu maaso ga Mukama.#Kuv 12:49, Leev 24:22, Kubal 15:29,30 16Etteeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe.”
17Mukama n'agamba Musa nti, 18“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwala, 19ne mulya ku mmere gye mulimye mu nsi eyo, munaatoolangako ne muwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama.#Yos 5:11,12 20Ku kitole ekisooka ekikandiddwa kwe munaggyanga omugaati ne muguwaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa; nga bwe mukola ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omu guuliro, bwe munaakisitulanga bwe mutyo.#Leev 2:14, Ma 26:2,10, Nek 10:37, Ez 44:30 21Ku kitole kyammwe ekisooka ekikandiddwa, kwe munaggyanga ekiweebwayo ekisitulibwa okuwa Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.”
22“Era bwe munaasobyanga ne mutakwata biragiro bino byonna Mukama bye yabuulira Musa,#Leev 4:2 23byonna Mukama bye yabalagira ng'ayita mu Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yaweerako ebiragiro ebyo, ne mu mirembe gyammwe gyonna;#Leev 4:13,23, Kubal 28:15 24awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna kinaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, era munaaleeterangako n'ekiweebwayo eky'obutta, n'ekiweebwayo eky'okunywa ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi.#Leev 4:13,23, Kubal 28:15 25Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga basobezza nga tebagenderedde, era nga baleese ekiweebwayo kyabwe, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo kyabwe olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe.#Leev 4:20 26Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa abantu bonna nga tebagenderedde. 27Era omuntu bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ewezezza omwaka okuba ekiweebwayo olw'ekibi.#Leev 4:27,28 28Kabona anaatangiriranga mu maaso ga Mukama, omuntu asobezza nga tagenderedde; era anaasonyiyibwanga.#Leev 4:35 29Munaabanga n'etteeka limu eri enzaalwa n'eri omugenyi atuula mu mmwe, anaakolanga ekikolwa kyonna nga tagenderedde.”
30“Naye omuntu anaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'avvodde Mukama; omuntu oyo anattibwanga,#Ma 17:12, Beb 10:26 31kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; omuntu oyo anattibwanga; obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye.”#Leev 26:15,43, 2 Sam 12:9, Nge 13:13
Omusajja eyasobya ku Ssabbiiti
32Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti.#Kuv 35:2,3 33N'abo abaamusanga ng'atyaba enku ne bamuleetera Musa ne Alooni n'ekibiina kyonna. 34Ne bamusiba, kubanga baali tebannamanya kyakumukolera.#Leev 24:12 35Mukama n'agamba Musa nti, “Omuntu oyo ateekwa okuttibwa. Ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.”#Kuv 31:14,15, Leev 24:14, Yos 7:25, Bik 7:58 36Ekibiina kyonna ne kimutwala ebweru w'olusiisira, ne kimukuba amayinja, n'afa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Amateeka g'ebijwenge
37Mukama n'agamba Musa nti, 38“Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera ebijwenge ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateekeko omuguwa ogwa bbulu ku bijwenge ebiri ku buli lukugiro;#Ma 22:12, Mat 9:20; 23:5 39Buli lwe munaalabanga ebijwenge ebyo, binaababeereranga akabonero okubajjukiza ebiragiro byonna ebya Mukama. Mu bikwatenga; muleme okunvaako nga mukola ng'okwegomba kw'emitima gyammwe n'amaaso gammwe bwe kuli.#Yob 31:7, Ez 6:9 40Mujjukire ebiragiro byange byonna mubikwate mube batukuvu eri Katonda wammwe. 41Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”#Leev 11:44,45
Currently Selected:
Okubala 15: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: