Makko 7
7
Obulombolombo bw'Abayudaaya
(Mat 15:1-20)
1Awo Abafalisaayo n'abawandiisi abamu, abaava e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu. #Mat 15:1-20 2Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya emmere n'engalo embi, okugamba, ze zitanaabiddwa.#Luk 11:38 3Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna, tebaalyanga mmere nga tebamaze kunaaba nnyo ngalo zaabwe, nga obulombolombo obw'abakadde bwe bulagira. 4Era bwe bavanga mu katale, nga tabasobola kulya nga tebannaba kwetukuza; era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe, n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo. 5Awo Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo obw'abakadde, naye ne balya emmere n'engalo embi? ” 6N'abagamba nti, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa,
Naye emitima gyabwe gindi wala. #
Is 29:13
7 Naye bansinziza bwereere,
Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.”
8 Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw'abantu. 9N'abagamba nti, “Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bwammwe. 10Kubanga Musa yayogera nti, ‘Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko; era nti Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi,’#Kuv 20:12; 21:17, Ma 5:16 11naye mmwe mwogera nti, ‘Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani’ (ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda), 12temukyamuganya okukolera ekintu kitaawe oba nnyina; 13mudibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe, bwe mwayigiriza: era mukola ebigambo ebirala bingi ng'ebyo.”
Ebyonoona omuntu
14Awo Yesu n'ayita ebibiina, n'abagamba nti, “Mumpulire mwenna, mutegeere; 15tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiva mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu.#Bik 10:14,15 16Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.” 17Awo bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu bibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza olugero olwo. 18N'abagamba nti, “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temutegeera nti, kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona; 19kubanga tekiyingira mu mutima gwe, naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kabuyonjo?” Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna. 20N'agamba nti, “Ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu. 21Kubanga munda, mu mitima gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, 22okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru: 23ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.”
Okukkiriza kw'omukazi omusulofoyiniiki
(Mat 15:21-28)
24Awo Yesu n'avaayo n'agenda mu bitundu bye Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba, n'atayagala muntu kutegeera, naye ne kitasoboka. #Mat 15:21-28 25Naye amangwago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye. 26Omukazi yali Muyonaani, eggwanga lye Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we. 27Yesu n'agamba omukazi nti, “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa.” 28Naye omukazi n'amuddamu nti, “Weewaawo, Mukama wange: n'embwa ziriira wansi w'emmeeza obukunkumuka bw'abaana.” 29Yesu n'amugamba nti, “Olw'ekigambo ekyo, weddireyo; dayimooni avudde ku muwala wo.” 30N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko.
Yesu awonya omuggavu w'amatu
31Ate n'ava mu bitundu bye Ttuulo, n'agenda e Sidoni, eyo gye yava n'addayo ku nnyanja ey'e Ggaliraaya nga ayitira mu kitundu ky'e Dekapoli. #Mat 15:29-31 32Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi; ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe.#Mak 5:23 33N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu, n'amukoma ku lulimi;#Mak 8:23 34n'atunula waggulu mu ggulu, n'assa ekikkowe, n'alyoka amugamba nti, “Efasa,” ekitegeeza nti, “ Gguka.” #Mak 6:41, Yok 11:41 35Amatu ge ne gagguka n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka n'ayogera bulungi. 36N'abakuutira baleme okubuulirako muntu; naye nga bwe yeeyongera okubakuutira, bwe beeyongera ennyo nnyini okukibunya.#Mak 1:43-45 37Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti, “ Ebintu byonna abikoze bulungi, olaba aggula abaggavu b'amatu, era n'ayogeza ne bakasiru!”#Is 35:5
Currently Selected:
Makko 7: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: