Makko 16:4-5
Makko 16:4-5 LBR
Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali ate nga lyali ddene nnyo. Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olweru, ne bawuniikirira.





