Malaki 3:11-12
Malaki 3:11-12 LBR
Ndiziyiza ebiwuka obutazikiriza birime byammwe, so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. Era amawanga gonna galibayita ba mukisa, kubanga muliba ensi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.





