YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 4:9-12

Lukka 4:9-12 LBR

N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu, n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi; kubanga kyawandiikibwa nti, “Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala; Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.” Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Kyawandiikibwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.”