Lukka 3:4-6
Lukka 3:4-6 LBR
nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge. Buli kiwonvu kirijjuzibwa, Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamye kirigololwa, N'amakubo agatali masende galitereezebwa; N'abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”





