YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 1

1
Ennyanjula
(1:1-4)
1Bangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe, 2nga bwe baabitubuulira, abo abaasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, #Yok 15:27, Mat 17:11-13, Mal 3:1; 4:5,6 3awo nange bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, ndabye nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro omulungi ennyo, byonna nga bwe byaliraana;#Bik 1:1 4olyoke omanye amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa.
Eby'okuzaalibwa kwa Yesu
(1:5—2:52)
Okuzaalibwa kwa Yokaana
5Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi.#1 Byom 24:10 6N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi. 7So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, ate nga bombi baali bakaddiye nnyo.
8Awo olwatuuka, Zaakaliya bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwakabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana, 9awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu Yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane.#Kuv 30:7 10Awo ekibiina kyonna eky'abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky'okwoterezaamu. 11Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwotereezaako. 12Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yeeraliikirira, n'atya. 13Naye malayika n'amugamba nti, “ Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana.”
14“Olisanyuka, era olijaguza,
era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe.
15Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama,
so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza;
era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu,
okuva mu lubuto lwa nnyina.#Kubal 6:3, Balam 13:4,5, 1 Sam 1:11
16Era abaana ba Isiraeri bangi alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe.
17Mukama mu Mwoyo n'amaanyi nga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana,
n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu okumulindirira.” #Mat 17:11-13, Mal 3:1; 4:5,6
18Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti, “ Nnaakimanya ntya ekyo? Kubanga nze ndi mukadde ne mukazi wange naye akaddiye.” #Lub 18:11 19Awo malayika n'addamu n'amugamba nti, “ Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi.#Dan 8:16; 9:21, Beb 1:14 20Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku bye nkugambye lwe biribaawo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo.”#Luk 1:45 21Awo abantu baali balindirira Zaakaliya, era nga beewuunya bw'aludde mu Yeekaalu. 22Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu Yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono kubanga yali azibye omumwa. 23Awo olwatuuka, ennaku ez'okuweereza kwe bwe zaggwaayo, n'addayo eka ewuwe.
24Awo ennaku ezo bwe zaayitawo mukazi we Erisabesi n'aba olubuto: ne yeekwekera emyezi etaano, ng'agamba nti, 25“Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu n'anzijako ensonyi mu bantu.”#Lub 30:23
Malayika Gabulyeri alanga okuzaalibwa kwa Yesu
26Awo mu mwezi ogw'omukaaga Katonda n'atuma malayika Gabulyeri mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi, 27eri omuwala atamanyi musajja, erinnya lye Malyamu, eyali ayogerezebwa omusajja, erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi.#Luk 2:5, Mat 1:16,18 28Awo Malayika najja gyali, n'amugamba nti, “ Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe.”#Balam 5:24 29Naye Malyamu ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli. 30Awo malayika n'amugamba nti, “ Totya, Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda. 31Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu.#Balam 13:3, Is 7:14, Mat 1:21-23 32Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, #Is 9:7, 2 Sam 7:12,13,16 33era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”#Mi 4:7, Dan 7:14 34Awo Malyamu n'agamba malayika nti, “ Kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja?” 35Ne malayika n'addamu n'amugamba nti, “Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda.#Kuv 13:12, Mat 1:18,20 36Laba, Erisabesi muganda wo, era naye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe, guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba. 37Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi.”#Lub 18:14 38Malyamu n'agamba nti, “ Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava gy'ali.
Malyamu akyalira Erisabesi
39Awo mu nnaku ezo Malyamu n'asituka n'agenda mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; 40n'ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. 41Awo olwatuuka Erisabesi bwe yawulira okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwe; Erisabesi n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu;#Luk 1:15, Lub 25:22 42n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti, “Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa.#Ma 28:4, Balam 5:24 43Nange nno, ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi? 44Kubanga laba, eddoboozi ly'okulamusa kwo bwe liyingidde mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwange, olw'essanyu. 45Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga ebyo bye wagambibwa Mukama, birituukirizibwa.”#Luk 1:20; 11:28 46Awo Malyamu n'agamba nti, #1 Sam 2:1-10
“Emmeeme yange etendereza Mukama,
47N'omwoyo gwange gusanyukidde Katonda Omulokozi wange.
48Kubanga alabye obunaku bw'omuzaana we:
Kubanga, laba, okusooka leero abantu ab'emirembe gyonna banaampitanga aweereddwa omukisa.#Luk 1:25, 1 Sam 1:11, Zab 113:5,6, Luk 11:27
49Kubanga Oyo Omuyinza ankoledde ebikulu;
N'erinnya lye ttukuvu.#Zab 111:9
50N'ekisa kye kiri eri abo abamutya;
Emirembe n'emirembe.#Zab 103:13,17
51Alaze amaanyi n'omukono gwe;
Asaasaanyizza abalina amalala mu kulowooza kw'omu mitima gyabwe.#Zab 89:10, 2 Sam 22:28
52Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe,
Agulumizizza abeetoowaze#Zab 147:6, Yob 12:19; 5:11, 1 Sam 2:7
53Abalina enjala abakkusizza ebirungi;
N'abagagga abagobye nga tebalina kintu.#1 Sam 2:5, Zab 34:10; 107:9
54Abedde Isiraeri omuddu we
Ajjukire ekisa kye#Is 41:8, Zab 98:3
55Nga bwe yagamba bajjajjaffe
Eri Ibulayimu n'ezzadde lye, emirembe gyonna.”#Mi 7:20, Lub 17:7; 18:18; 22:17
56Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'esatu, n'addayo ewuwe.
Erisabesi azaala omwana
57Awo ebiro bya Erisabesi ne bituuka eby'okuzaala: n'azaala omwana wa bulenzi. 58Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amukwatiddwa ekisa kye, ne basanyukira wamu naye. 59Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; era baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya.#Lub 17:12 60Nnyina n'addamu n'abagamba nti, “ Nedda, naye anaatuumibwa Yokaana.”#Luk 1:13 61Ne bamugamba nti, “ Tewali wa mu kika kyo ayitibwa linnya eryo.” 62Ne bawenya ku kitaawe, bw'ayagala okumutuuma. 63N'ayagala ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika, nti Erinnya lye ye Yokaana. Ne beewuunya bonna. 64Amangwago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera nga yeebaza Katonda. 65Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey'ensozi ey'e Buyudaaya. 66Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti, “ Kale omwana oyo aliba ki?” Kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
Oluyimba lwa Zaakaliya
67Kitaawe Zaakaliya n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, n'ayogera, ng'agamba nti,
68“Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri;
Kubanga akyalidde abantu be,
era abanunudde,#Luk 7:16, Zab 41:13; 72:18
69Era atuyimusirizza ejjembe ery'obulokozi
Mu nnyumba y'omuddu we Dawudi.#1 Sam 2:10, Zab 18:2; 132:17
70Nga bwe yayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu,
abaaliwo kasookedde ensi ebaawo,
71Okulokolebwa mu balabe baffe,
ne mu mikono gy'abo bonna abatukyawa;#Zab 106:10
72Okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe,
N'okujjukira endagaano ye entukuvu;#Zab 105:8; 106:45, Lub 17:7, Leev 26:42
73Okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,#Lub 22:16,17, Mi 7:20
74Okukituwa ffe;
ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baffe,
Tulyoke tumuweereze nga tetuliiko kye tutya,#Tit 2:12,14
75Mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna.
76Naawe, omwana, oliyitibwa nnabbi w'Oyo Ali waggulu ennyo:
Kubanga olikulembera Mukama okulongoosa amakubo ge;#Mal 3:1, Mat 3:3
77Okumanyisa abantu be obulokozi,
Ebibi byabwe bibaggibweko,#Yer 31:34
78Olw'ekisa kya Katonda waffe ekirungi,
Emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu,#Kubal 24:17, Is 60:1,2, Mal 4:2
79Okwakira abatuula mu nzikiza,
ne mu kisiikirize ky'olumbe,
Okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.” #Mat 4:16, Is 9:2; 58:8
80Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n'abeeranga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri.#Mat 3:1

Currently Selected:

Lukka 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in