YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 6

6
Okuzzangayo ekitali kikyo
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu ebyo bye yateresebwa; oba ebyo ebyamusingirwa oba n'amunyaga oba n'amujooga;#Kuv 22:7,10, Leev 19:11,13, Kubal 5:6 3oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba mu bigambo byonna ku ebyo byonna omuntu byakola ng'ayonoona bw'atyo,#Leev 19:12, Ma 22:1-3, Zek 5:4 4kale anaabanga ayonoonye, era ng'aliko omusango. Annaazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyamuteresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula, 5oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo ekyokutaano; alikiwa nannyini kyo ku lunaku lw'alizuulibwa ng'aliko omusango.#Kubal 5:7, 2 Sam 12:6, Luk 19:8 6Era anaaleetanga eri kabona endiga ennume eteriiko bulema ey'omukisibo, nga bw'onosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusango eri Mukama.#Leev 5:18 7Ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu ebyo byonna bye yasobya.”
Enkwata y'ebiweebwayo (6:8—7:38)
8Mukama n'agamba Musa nti, 9“Lagira Alooni n'abaana be nti lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga. 10Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta; kale anaatwalanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro n'aliteeka ku mabbali g'ekyoto.#Leev 1:16; 16:4, Ez 44:18 11Awo anaayambulangamu ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira mu kifo weriyiibwa.#Ez 44:19 12Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayongerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe. 13Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto ekiseera kyonna obutazikiranga.
14“Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiweerangayo mu maaso ga Mukama, mu maaso g'ekyoto.#Leev 2:1 15Era anaayolangako olubatu olw'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta n'omugavu, n'abwokera ku kyoto, okuba ekijjukizo eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.#Leev 2:2 16N'ekyo ekinaafikkangawo, nga tekirimu kizimbulukusa, Alooni n'abaana be banaakiriranga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.#Leev 10:12,13 17Tekyokebwanga nga kitabuddwamu ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.#Leev 2:3,11; 6:25,29; 7:1, Kubal 18:9 18Buli musajja ku baana ba Alooni, ng'etteeka ennaku zonna, mu mirembe gyammwe gyonna, banaalyanga ku biweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.”#Kuv 29:37; 30:29, Kubal 18:10
19Mukama n'agamba Musa nti, 20“ Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta: ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi. 21Bunaagoyebwanga n'amafuta ku kikalango; on'obuleetanga nga butabuddwa bulungi mu bitole ebyokeddwa, nga bwe kiri mu kiweebwayo eky'obutta, okuba evvumbe eddungi eri Mukama.#Leev 2:5; 7:12 22Era kabona ava mu lubu lwa Alooni, eyafukibwako amafuta okumusikira, anaakiwangayo eri Mukama, ne kyokebwa kyonna, ng'etteeka eritajjulukuka ennaku zonna.#Kuv 29:25 23Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna; tekiriibwanga.”
24Mukama n'agamba Musa nti, 25“Gamba Alooni n'abaana be nti, Lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama; kye kitukuvu ennyo.#Leev 1:3,11; 4:1-35; 6:17 26Kabona akiwaayo olw'ekibi y'anaakiryanga; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.#Leev 6:16, Kubal 18:9,10, Ez 44:27,29 27Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu; era omusaayi bwe gunaamansirwanga ku kyambalo kyonna, kinaayolezebwanga mu kifo ekitukuvu.#Leev 6:18 28Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga; era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaakuutibwanga era ne kinyumunguzibwa n'amazzi.#Leev 11:32,33; 15:12 29Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kye kitukuvu ennyo.#Kubal 18:10 30So tewabangawo kiweebwayo olw'ekibi ekitooleddwako omusaayi gwakyo nga guyingizibbwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, ekinaalibwangako; wabula kinaayokebwanga n'omuliro.”#Leev 4:7,11; 16:27, Beb 13:11

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 6: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in