Eby'Abaleevi 20
20
Ebibonerezo Eby'obujeemu
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna mu Baisiraeri, oba mu bannamawanga abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, anattibwanga abantu bonna nga bamukuba amayinja.#Leev 18:21 3Era nange naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu bange; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, naayonoonyesa awatukuvu wange, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu.#Leev 17:10; 18:21, Ez 5:11; 23:38,39 4Naye abantu ab'omu nsi bwe bataafengayo ku kibi ky'omuntu oyo awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki ne batamutta,#Ma 17:2,3,5 5Nze, nze nnyini naamusunguwaliranga, ye n'ab'omu nnyumba ye, ne bonna abamwegattako okusinza Moleki ne mbaboola okuva mu bantu bange.”#Kuv 20:5; 34:15 6“Omuntu yenna bw'anaanvangako n'agenda eri abasamize n'abalogo, naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu be.#Leev 19:31 7Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.#Kuv 22:31, Leev 11:44 8Era mwekuumenga amateeka gange, mugakwatenga; Nze Mukama abatukuza.#Kuv 31:13, Leev 18:4, Ez 37:28 9Buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina anattibwanga, anaabanga yeeleetedde yekka okuttibwa.#Kuv 21:17, 2 Sam 1:16, 1 Bassek 2:32, Mat 15:4 10Omusajja bw'anaayendanga ku muk'omusajja, abenzi bombi, omusajja n'omukazi, banattibwanga.#Leev 18:20, Ma 22:22, Yok 8:4,5 11Omusajja yenna aneegattanga ne muka kitaawe, anaabanga akoze ekivve, era abantu abo bombi banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.#Leev 18:8 12Omusajja bw'aneegattanga ne muka mwana we, nga bakoze ekivve, bombi banattibwa; be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa. 13Omusajja bw'aneegattanga ne musajja munne, nga bwe yandyegasse n'omukazi, nga bakoze eky'omuzizo; banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.#Leev 18:22 14Omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kivve; bonsatule banaayokebwanga omuliro; temukkirizanga kibi ng'ekyo kubeera mu mmwe.#Leev 18:17 15Omusajja bw'aneegattanga n'ensolo, anattibwanga; n'ensolo nayo enettibwanga.#Leev 18:23 16Omukazi aneegattanga n'ensolo anattibwanga, n'ensolo nayo n'ettibwa, ye n'ensolo eyo bye binaabanga byereetedde byokka okuttibwa. 17Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba wa nnyina, banaabanga bakoze eky'obuwemu; banaabolebwanga okuva mu bantu baabwe, era omusajja oyo eyeegatta ne mwannyina anaavunaanibwanga olw'ekibi ekyo.#Leev 18:9 18Omusajja bw'aneegattanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaabolebwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu.#Leev 18:19 19Teweegattanga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe.#Leev 18:6,12,13 20Omusajja bw'aneegattanga ne muka kitaawe omuto oba muka kojjaawe, nga bakoze ekivve, era ye n'omukazi oyo banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe, era balifa nga bagumba.#Leev 18:14 21Omusajja bw'aneegattanga ne muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we, era baliba bagumba.”#Leev 18:16
22“Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna ne mubituukirizanga; ensi gye mbatwala okubeeramu ereme okubagaana.#Leev 18:4,25 23Temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe; kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyennava mbakyawa.#Leev 18:3,24, Ma 9:5 24Naye mmwe n'abagamba nti, ‘Mulisikira ensi yaabwe, ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga.#Kuv 3:17; 6:8; 19:5; 33:16, Ma 7:6, 1 Bassek 8:53 25Kale munaayawulanga ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi ennongoofu n'eteri nnongoofu. Temufuukanga batali balongoofu nga mulya ensolo, oba ennyonyi, oba ekintu kyonna ekyewalula ku nsi, bye nnabagaana.#Leev 11:2-47, Ma 14:4-20 26Munaabanga batukuvu gye ndi; kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nnabaawula mu mawanga mubeere abange.”#Kuv 19:6, Leev 19:2
27“Omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, banaakubibwanga amayinja ne bafa, be banaabanga bereeseeko bokka okuttibwa.”#Kuv 22:18, Leev 19:31; 20:2,9
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 20: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: