YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 13

13
Amateeka agakwata ku ndwadde z'olususu
1Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 2Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kubutuka oba mbalabe erungudde ku lususu lwe, ekiyinza okuvaamu endwadde y'ebigenge, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona.#Ma 24:8 3Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu; era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kisensedde wansi w'olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu. 4Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku lususu, naye ekifaananyi kyayo nga tekisensedde wansi w'olususu, n'obwoya bwawo nga tebwerukiridde, kale kabona anaamwawulanga mu bantu okumala ennaku musanvu. 5Awo ku lunaku olw'omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo, nga tebunye lususu lwonna, anaddangamu okumwawula mu bantu ennaku musanvu endala. 6Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, era endwadde bw'enaabanga tekyalabika nnyo, nga tebunye ku lususu, anaamwatuliranga nga mulongoofu, nga kubadde kubutuka bubutusi; anaayozanga engoye ze, n'aba nga mulongoofu.#Leev 13:24 7Naye okubutuka bwe kunaabunanga ku lususu ng'amaze okweraga eri kabona, olw'okulongoosebwa kwe, anaddangamu okweraga nate eri kabona. 8Kabona anaamukeberanga, era okubutuka bwe kunaabanga kubunye ku lususu, anaamwatuliranga nti alwadde ebigenge; si mulongoofu.
9“Endwadde y'ebigenge bw'eba ng'ekutte omuntu, anaaleetebwanga eri kabona; 10kabona anaamukeberanga, kale ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku lususu era nga kifudde obwoya okuba obweru era ekizimba nga kirungudde;#Kubal 12:10,12, 2 Bassek 5:27, Mat 8:4, Luk 17:14 11ebyo nga bye bigenge ddala ddala, era kabona anaamulangiriranga nga si mulongoofu. 12Era endwadde y'olususu bw'efuutukanga, n'ebuna omubiri gwonna ogw'omulwadde okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, kabona anaamukeberanga, 13awo kabona bw'anaalabanga nga byeru bweru ku lususu, anaamwatuliranga nga mulongoofu. 14Olususu bwerunaalunguulanga, anaabanga atali mulongoofu. 15Awo kabona anaakeberanga awalungudde, n'amwatulira nti alwadde ebigenge; si mulongoofu. 16Naye okulunguula bwe kukyukanga nate ne kufuuka olususu olweru, kale anajjanga eri kabona, 17kabona anaamukeberanga era bw'anaalabanga ng'olususu lufuuse olweru, kale anaayatuliranga omulwadde nti mulongoofu.”
18“Omuntu bw'analwalanga ejjute neriwona, 19awabadde ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru oba embalabe erungudde enjeruyeru oba emyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona.#Leev 13:24 20Awo kabona anaakeberanga, era ekizimba bwe kinaalabikanga nga kisensedde wansi w'olususu n'obwoya bwawo nga bwerukiridde, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu; nga ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute. 21Naye kabona bw'anaakikeberanga, era laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekisensedde wansi w'olususu era nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamwawulanga okumala ennaku musanvu. 22Awo bwe kinaabunanga ku lususu, kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu; eyo y'endwadde y'ebigenge. 23Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, era nga tebunye, eyo nga ye nkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.#Leev 13:28
24“Omuntu bw'anayokebwanga omuliro ku lususu ne kubaako embalabe erungudde, enjeruyeru oba emmyukirivu,#Leev 13:19 25awo kabona anaagikeberanga, era bwe wanaalabikanga ng'obwoya obw'omu mbalabe erungudde nga bwerukiridde era ng'embalabe esensedde wansi w'olususu; ebyo nga bye bigenge ebifulumye awayokebbwa. Kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu. 26Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tesensedde wansi w'olususu, naye nga terabika bulungi, kale kabona anaamwawulanga okumala ennaku musanvu. 27Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'endwadde ebunye ku lususu lwonna, kale anaamwatuliranga nga si mulongoofu, eyo nga y'endwadde ey'ebigenge. 28Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku lususu, era ng'okulunguula kukendedde, ekyo nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu; kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.#Leev 13:23
29“Omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kalevu, 30kabona anaakeberanga endwadde eyo, era bw'anaakizuulanga ng'esensedde wansi w'olususu era nga mulimu n'e nviiri eza kyenvu ez'entalaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu, ekyo nga kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kalevu. 31Era kabona bw'anaakeberanga oyo alwadde ekikakampa n'alaba nga tekisensedde wansi w'olususu, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamwawulanga okuva mu bantu okumala ennaku musanvu. 32Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'ekikakampa tekibunye mu mutwe oba ku kalevu, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga tekisensedde wansi w'olususu, 33kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era anaamwawulanga okuva mu bantu, okumala ennaku musanvu endala. 34Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaakeberanga ekikakampa nate, bw'anaakizuulanga nga tekibunye lususu lwonna, era nga tekisensedde wansi waalwo, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu, era anaayozanga engoye ze n'aba mulongoofu. 35Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku lususu ng'amaze okulongoosebwa; 36awo kabona anaamukeberanga; bw'anaalabanga ng'ekikakampa kibunye ku lususu, tanoonyanga nviiri za kyenvu, oyo si mulongoofu. 37Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo nga mulongoofu; kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
38“Era omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'embalabe enjeru ezirungudde ku lususu lwe; 39kale kabona anaamukeberanga; awo embalabe ezirungudde, eziri ku lususu bwe zinaabanga enjeruyeru, nga bwe butulututtu obufulumye mu lususu; oyo nga mulongoofu.”
40“Era omusajja bw'anaabanga akuunyuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; era nga mulongoofu. 41Era bw'anaabanga akuunyuse enviiri ez'omu kawompo, nga wa kiwalaata kya mu kawompo; naye nga mulongoofu. 42Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ak'ekiwalaata; ebyo nga bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata. 43Awo kabona anaamukeberanga; kale, laba, ekizimba bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata, ng'endwadde y'ebigenge bw'ebeera ku lususu; 44Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu olw'ebigenge ebiri ku mutwe gwe.”
45“Omugenge anaayambalanga engoye enjulifuyulifu, n'enviirize tazisibangako, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayogereranga waggulu nti, Siri mulongoofu, siri mulongoofu.#Leev 10:6, Kung 4:15, Ez 24:17,22, Mi 3:7 46Ekiseera kyonna ky'anaamalanga nga mulwadde, anaabeeranga atali mulongoofu; anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.”#Kubal 5:2; 12:14,15, 2 Bassek 7:3; 15:5, Luk 17:12
Amateeka agakwata ku bigenge ebiri ku bintu
47Era ekyambalo kyonna ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kya byoya bya ndiga, oba kya bafuta;#13:47 Endwadde y'ebigenge Mundowooza ya Baebbulaniya ebigenge nga bitwaliramu n'engeri y'obukuku n'endwadde z'olususu. 48bwe bibanga mu wuuzi ez'olugoye lw'ekyambalo, oba kya bafuta oba kya byoya, oba kya ddiba, oba ku kintu ekikoleddwa mu ddiba, 49era endwadde bw'ebanga eyakiragala oba mmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba oba ku wuuzi ez'olugoye, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ye ndwadde ey'ebigenge era eneeragibwanga kabona. 50Awo kabona anaakeberanga endwadde, n'ayawula ekyambalo ekiriko endwadde okumala ennaku musanvu. 51Oluvannyuma lw'ennaku omusanvu, kabona anaddangamu n'akebera ekyambalo nate, endwadde bw'eneerabikanga ng'ebunye ku kyambalo kyonna oba ku ddiba, oba ku kintu kyonna ekikolebwa mu ddiba; ebyo nga bye bigenge ebizibu ennyo; nga si kirongoofu.#Leev 14:44, Mat 8:2,4, Luk 17:14 52Ekyambalo kyonna oba kya wuuzi, oba kya byoya, oba kya bafuta oba kya kintu ekikolebwa mu ddiba ekiriko ebigenge ebizibu ennyo kinaayokebwanga n'omuliro. 53Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kyambalo ekyo, newakubadde ekintu kyonna ekikoleddwa mu ddiba; 54awo kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, era anaakyawulanga okumala ennaku musanvu endala. 55Awo kabona bw'anaakeberanga ekyambalo, oba ekintu kyonna ekimaze okwozebwa, n'alaba ng'endwadde tekyusizza langi yaayo, so nga tebunye wonna; oba kungulu w'ekyambalo oba ekintu ekirala kyonna, nga si kirongoofu; anaakyokyanga n'omuliro. 56Oluvannyuma lw'okwoza ekyambalo, kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde teyeeyongedde kusaasaana, kale anaayuzangawo ekiwero awali endwadde. 57Naye bw'anaakizuulanga oluvannyuma lw'okwozebwa ng'endwadde esaasaana busaasaanyi, anaakyokyanga. 58N'ekyambalo kyonna eky'olugoye oba eky'ekintu kyonna eky'eddiba bwe kinaayozebwanga n'ekirabika ng'endwadde evuddemu, kinaayozebwanga nate omulundi ogwokubiri ne kiryoka kiba kirongoofu. 59Eryo lye tteeka ly'endwadde y'ebigenge erikwata ku kyambalo kyonna oba kya byoya, oba kya bafuta, oba kya kintu kyonna ekikolebwa mu ddiba; okunasinziirwanga okukirangirira oba nga kirongoofu oba nga si kirongoofu.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 13: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in