Eby'Abaleevi 11
11
Amateeka ku birongoofu n'ebitali birongoofu (11:1—15:33)
1Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni n'agamba nti,#Ma 14:3-20 2“Mugambe abaana ba Isiraeri nti bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi. 3Buli nsolo erina ekinuulo ekyawulemu, era erina ekigere ekyaseemu, era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga. 4Naye Zino ze mutalyanga ku ezo ezizza obwenkulumu oba ku ezo ezaawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli. 5Omusu, kubanga guzza obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli. 6Akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli. 7Embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo, era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli.#Is 65:4; 66:3,7,17 8Temulyanga ku nnyama yaazo, so temuzikomangako nga zifudde, kubanga si nnongoofu gye muli.
9“Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga. Ebyo bye munaalyanga. 10Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.#Leev 7:21 11Binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, so temubikomangako nga bifudde. 12Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli.
13“Nazino ze nnyonyi ez'omuzizo zemutalyenga: ennunda, n'empungu, ne makwanzi; 14kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo; 15nnamuŋŋoona n'engeri ye; 16maaya, olubugabuga, olusove, n'enkambo n'engeri yaayo; 17ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkukufu; 18ekiwuugulu eky'amatu, kimbala, n'ensega; 19kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, ekkookootezi, n'ekinyira.
20“Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana, binaabaanga bya muzizo gye muli. 21Naye bino bye muyinza okulya ku biwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana: ebyo ebibuukabuuka n'amagulu gaabyo ku ttaka. 22Bino bye muyinza okulya ku ebyo: enzige n'engeri yaayo, enseenene n'engeri yaayo, akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo.#Mat 3:4 23Naye ebiwuka ebirala ebirina ebiwaawaatiro, eby'amagulu ana bya muzizo gye muli.
24“Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaabikomangako nga bifudde anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, 25era buli asitula efudde ku zo, anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.#Leev 14:47; 15:5; 17:15, Kubal 19:10 26Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era nga terina kigere kyaseemu, ate nga tezza bwenkulumu, si nnongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu. 27Era buli nsolo ey'amagulu ana etambuza ebibatu byayo, si nnongoofu gye muli; buli anaagikomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28Ensolo zino si nnongoofu gye muli, era n'oyo anaazisitulanga nga zifudde anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
29“Ku ebyo ebitambulira ku ttaka, bino si birongoofu gye muli: eggunju, emmese, ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo,#Is 66:17 30ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu. 31Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebitambulira ku ttaka; buli anaabikomangako nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 32Era ekimu ku ebyo ekifudde, bwe kinaagwanga ku kintu kyonna, kinaakifuulanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo oba kintu kyonna kyonna, ekikozesebwa omulimu gwonna, kinaateekebwanga mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.#Leev 15:12 33Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo munaakyasanga. 34Buli ekiriibwa bwe kinaayikangako amazzi agavudde mu kye bbumba ekitali kirongoofu; kinaabanga ekitali kirongoofu, era buli kya kunywa ekinanywebwanga okuva mu ky'ebbumba ekyo, kinaabanga ekitali kirongoofu. 35Era buli kintu ekinaagwibwangako ekintu kyonna ku ebyo ebifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; oba nga kigudde ku kabiga, oba masiga, kinaamenyebwamenyebwanga; si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli. 36Naye oluzzi oba ekidiba bwe kinaafiirangamu ekimu ku ebyo ebitali birongoofu, oluzzi olwo n'ekidiba binaasigalanga nga birongoofu, naye ekinaakomanga ku ekyo ekifiiriddemu, kinaabanga ekitali kirongoofu. 37Era oba nga ekitali kirongoofu ekifudde, kikoma ku nsigo yonna ey'okusiga, yo eneesigalanga nga nnongoofu; 38Naye singa ensigo eba ennyikiddwa mu mazzi, ekimu ku ebyo ekifudde ne kimala kigikomako, eneefuukanga eteri nnongoofu gye muli.
39“Era oba ng'ensolo yonna, eriibwa efa, akoma ku yo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.#Leev 17:15; 22:8, Ma 14:21, Ez 4:14 40N'oyo anaagiryangako anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era n'oyo anaagiggyangawo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41“Buli ekitambula nga kyewalula ku ttaka kya muzizo; tekiriibwanga. 42Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo. 43Temweyonoonesanga na kyewalula kyonna, muleme okuba abatali balongoofu.#Leev 20:25 44Kubanga nze Mukama Katonda wammwe; kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu. Temweyonoonanga na ngeri yonna ey'ekyewalula ku nsi so.#Leev 19:2; 20:7,26, 1 Peet 1:16, Leev 4:26; 5:7, Luk 2:24 45Kubanga nze Mukama eyabaggya mu nsi ey'e Misiri okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”#Kuv 6:7; 20:2
46Eryo lye tteeka erikwata ku nsolo ne ku nnyonyi, na ku buli kitonde ekiramu ekitambulira mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalulira ku nsi, 47okwawulangamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ebiramu ebiriibwa n'ebitaliibwa.#Leev 10:10; 20:25
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 11: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: