YouVersion Logo
Search Icon

Yoswa 20

20
Ebibuga eby'obuddukiro
1Mukama n'agamba Yoswa nti, 2“Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Mwerondere ebibuga eby'okuddukirangamu bye nnabagambako nga mpita mu Musa.#Kuv 21:13, Kubal 35:6,11-14, Ma 4:41-43; 19:2-9 3Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga. 4Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, n'ategeeza abakadde be kibuga ekyo ensonga ze; nabo banaamutwalanga mu kibuga gyebali, ne bamuwa ekifo eky'okubeeramu, era anaasigalanga n'abo.#Luus 4:1,2 5Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anamulumbangayo, ab'omukibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye, banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa. 6Oyo eyatta omuntu anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa nga amaze okuwozesebwa n'okusalirwa omusango mu maaso g'ekibiina ky'abantu, okutuusa nga kabona asinga obukulu aliwo mu biseera ebyo amaze okufa; Olwo omussi oyo n'alyoka addayo mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, gye yava okudduka.’ ”#Kubal 35:12,24,25 7Bino by'ebibuga bye balonda okuddukirangamu: Kedesi eky'omu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba ye Kebbulooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda.#Yos 21:11,13,21,32 8Ku ludda olw'ebuvanjuba olw'omugga Yoludaani ne balonda: Bezeri ekya b'ekika kya Lewubeeni ekiri mu lusenyi olw'eddungu mu buvanjuba bwa Yeriko, Lamosi ekya b'ekika kya Gaadi mu Gireyaadi ne Golani ekya b'ekika kya Manase mu Basani.#Ma 4:43, Yos 21:27,36,38, 1 Bassek 22:3 9Ebyo bye bibuga ebyalondebwa abaana ba Isiraeri okuba eby'okuddukirangamu. Omuntu yenna oba mu Isiraeri oba munnaggwanga anattanga omuntu nga tagenderedde addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo awooleera eggwanga, okutuusa nga amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina.#Kubal 35:15

Currently Selected:

Yoswa 20: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in