Yoswa 2
2
Yoswa atuma abakessi e Yeriko
1Yoswa omwana wa Nuuni n'atuma abantu babiri mu nkiso okuva mu Sittimu, ng'ayogera nti, “Mugende, mukette ensi naddala Yeriko.” Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.#Kubal 25:1, Mat 1:5, Beb 11:31, Yak 2:25 2Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti, “Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi.” 3Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti, “Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo; kubanga bazze okuketta ensi yonna.” 4Naye omukazi n'abatwala bombi, n'abakweka; n'ayogera nti, “Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nnabadde simanyi gye bavudde; 5awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda; abantu gye bazze simanyi, mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.” 6Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako obuti obw'obugoogwa, bwe yali ateeseteese obulungi ku kasolya. 7Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko, abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.#Balam 3:28; 7:24 8Bo nga tebanneebaka, n'alinnya gyebali ku kasolya; 9n'agamba abantu nti, “Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna batekemuse ku lwammwe.#Kuv 15:15,16; 23:27, Yos 2:24 10Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi, be mwazikiririza ddala.#Kuv 14:21, Kubal 21:23-26,33-35, Yos 9:9,10, Zab 135:11; 136:19,20 11Naffe bwe twakiwulira, emitima gyaffe ne giryoka gitekemuka, so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna, ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.#Kuv 15:14,15, Ma 4:39, Yos 5:1 12Kale kaakano, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi, nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero akankakasa ekyo, 13era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa.” 14Abantu ne bamugamba nti, “Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe! bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino, awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.”#Balam 1:24,25 15Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwataganye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeeranga ku bbugwe.#1 Sam 19:12, Bik 9:25, 2 Kol 11:33 16N'abagamba nti, “Mugende ku lusozi, ababagoberedde baleme okubasanga; era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa ababagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.” 17Abantu ne bamugamba nti, “Tetulimenya kirayiro kyo kino ky'otulayizizza. 18Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu; era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.#Yos 6:23 19Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango; era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango, era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna.#Mat 27:25 20Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino, tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.”#Yos 2:14 21N'ayogera nti, “Ng'ebigambo byammwe bwe biri, kibeere bw'ekityo.” N'abasindika, ne bagenda, n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa. 22Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo, kubanga, abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba. 23Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako. 24Ne bamugamba Yoswa nti, “Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna batekemukira ddala mu maaso gaffe.”#Kuv 23:31, Yos 2:9; 21:44
Currently Selected:
Yoswa 2: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: