YouVersion Logo
Search Icon

Yoswa 17

17
Ekitundu kya Manase eky'ebugwanjuba
1Awo akalulu ne kakubwa, ak'ekika kya Manase, kubanga oyo ye omwana wa Yusufu omubereberye. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, n'aweebwa Gireyaadi ne Basani.#Lub 41:51; 48:18; 50:23 2Era obululu n'ebukubibwa eri abaasigalawo mu kika Manase, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali; Abiezeri ne Kereki, ne Asuliyeri, ne Sekemu, ne Keferi, ne Semida. Abo be bazzukulu ab'obulenzi aba Manase mutabani wa Yusufu, abakulu b'ennyumba. 3Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala; na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza.#Kubal 26:33; 27:1; 36:2,11 4Ne bagenda eri Eriyazaali kabona, ne Yoswa omwana wa Nuuni, n'abakulu abalala, ne babagamba nti, “Mukama yalagira Musa okutuwa obutaka mu baganda baffe.” Bw'atyo okusinziira ku kiragiro kya Mukama, n'abawa obutaka mu baganda bakitaabwe.#Kubal 27:6,7 5Bw'atyo Manase n'afuna ebitundu kkumi ebyeyongera ku Gireyaadi ne Basani ebiri ku ludda lwa Yoludaani olw'ebuvanjuba;#Yos 13:30,31 6kubanga abaana ba Manase abawala nabo baaweebwa obutaka awamu n'abaana be ab'obulenzi. Ensi ey'e Gireyaadi n'eweebwa aba Manase abalala. 7Obutaka bwa Manase bwava ku Aseri okutuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu. Okuva awo ensalo neyeyongerayo mu bukiikaddyo n'etwaliramu n'abantu be Entappua.#Yos 16:6 8Ekibuga Tappua ekyali ku nsalo ya Manase ne Efulayimu kyali kya Efulayimu, naye nga ebitundu ebikyetoolodde byali bya Manase.#Yos 16:8,9 9Awo ensalo neyeyongerayo ng'ekka okutuuka ku mugga Kana. Ebibuga eby'omubukiikakkono obw'omugga, byali bya Efulayimu n'ewankubadde nga byali mu kitundu kya Manase. Ensalo ya Manase neyita ku ludda olwa kkono olw'omugga, n'ekoma ku nnyanja eyawakati; 10Efulayimu n'abeera ku ludda olw'obukiikaddyo, Manase n'abeera ku bukiikakkono, nga ebitundu byabwe bituuka ku nnyanja eyawakati ku luuyi olw'ebugwanjuba; ekitundu kyabwe ne kituuka ku Aseri ku bukiikakkono, ne Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba. 11Mu kitundu kya Isakaali ne Aseri, Manase naafunayo; Besuseani n'ebyalo by'akyo, Ibuleamu n'ebyalo by'akyo, n'abatuuze be Endoli n'e byalo by'akyo, awamu n'abatuuze be Taanaki n'e byalo by'akyo, n'abatuuze be Megiddo n'e byalo by'akyo, ze nsozi essatu.#Yos 12:23, 1 Byom 7:29 12Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani mu bibuga ebyo, naye ne baatula wamu nabo.#Balam 1:27,28 13Abaisiraeri ne bwe beeyongera amaanyi, ne batagobaamu Bakanani bonna, wabula ne babawalirizanga okubakolera emirimu.#Yos 16:10, 1 Bassek 9:20,21
Efulayimu ne Manase basaba okubongera ettaka
14Bazzukulu ba Yusufu ne bagamba Yoswa nti, “Lwaki otuwadde omugabo gumu gwokka ogw'ettaka okuba ogwaffe, ate nga Mukama yatuwa omukisa ne tuba bangi nnyo?”#Lub 48:19,22, Kubal 26:34,37, Yos 16:4,5 15Yoswa n'addamu nti, “oba nga muli bangi nnyo, ng'ensi ya Efulayimu ey'ensozi tebamala, mugende mu bibira mwesaayire omwo, mu nsi y'Abaperezi n'Abalefa.”#Ma 3:13 16Abaana ba Yusufu ne baddamu nti, Ensi ey'ensozi tetumala ate n'Abakanani bonna abali mu kitundu eky'ekiwonvu Besuseani n'ebibuga byakyo ne Yezuleeri, balina amagaali ag'ebyuma.#Balam 1:19; 4:3 17Yoswa n'agamba ennyumba ya Yusufu, ye Efulayimu ne Manase, ng'ayogera nti, “Oli ggwanga ddene, era olina n'amaanyi mangi, toliba na kalulu kamu kokka; 18naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago; kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi.”#Ma 20:1, Yos 11:6

Currently Selected:

Yoswa 17: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in