Yeremiya 36
36
Baluki asomera omuzingo gw'ekitabo mu nnyumba ya Mukama
1Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama nga kyogera nti,#Yer 25:1; 45:1 2“Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiike omwo ebigambo byonna bye nkubuulidde ebikwata ku Isiraeri, ne ku Yuda, ne ku mawanga gonna, okuva ku lunaku lwe nnayogera naawe, okuva ku mirembe gya Yosiya n'okutuusa leero.#Yer 1:2; 25:3,15-26; 30:2; 46:1—51:64 3Mpozzi ennyumba ya Yuda baliwulira obubi bwonna bwe nteesa okubakola; era buli muntu n'akyuka okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nsonyiwe obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe.”#Yer 18:8; 26:3, Ez 12:3 4Awo Yeremiya n'ayita Baluki mutabani wa Neriya; Baluki n'awandiika ku muzingo gw'ekitabo, nga Yeremiya bwe yamubuulira ebigambo byonna ebya Mukama, bye yali ayogedde naye.#Yer 32:12 5Awo Yeremiya n'alagira Baluki ng'ayogera nti, “Nsibiddwa; siyinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama;#Yer 32:2 6kale genda ggwe osome mu muzingo gw'owandiise ng'oggyamu bigambo bye nkubuulidde, ebigambo bya Mukama mu matu g'abantu mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusiibirako; era obisomanga ne mu matu g'abantu bonna aba Yuda abava mu bibuga byabwe. 7Mpozzi balireeta okwegayirira kwabwe mu maaso ga Mukama, ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; kubanga obusungu n'ekiruyi Mukama by'ayogedde ku bantu bano binene.” 8Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akola nga byonna bwe byali Yeremiya nnabbi bye yamulagira, ng'asoma mu kitabo ebigambo bya Mukama mu nnyumba ya Mukama.
9Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'omwenda, abantu bonna abaali mu Yerusaalemi n'abantu bonna abaava mu bibuga bya Yuda ne bajja e Yerusaalemi ne balangirira okusiiba mu maaso ga Mukama.#2 Byom 20:3 10Awo Baluki n'asoma mu kitabo ebigambo byonna Yeremiya bye yali amubuulidde; mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, ekyali waggulu w'oluggya olw'engulu, okumpi n'o mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama mu matu g'abantu bonna.#Yer 26:10,24; 40:5
Omuzingo gw'ekitabo gusomerwa abakungu
11Awo Mikaaya mutabani wa Gemaliya, Gemaliya mutabani wa Safani, n'awulira ebigambo byonna ebya Mukama okuva mu kitabo, 12n'aserengeta mu nnyumba ya kabaka mu kisenge eky'omuwandiisi, kale, laba, abakungu bonna nga batudde omwo, Erisaama omuwandiisi ne Deraya mutabani wa Semaaya ne Erunasani mutabani wa Akubooli ne Gemaliya mutabani wa Safani ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya n'abakungu bonna.#Yer 26:22 13Awo Mikaaya n'alyoka ababuulira ebigambo byonna bye yali awulidde, Baluki bwe yasoma mu muzingo nga abantu bonna bawulira. 14Abakungu bonna kyebaava batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, Nesaniya mutabani wa Seremiya, Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki bamugambe nti, “Kwata omuzingo gw'ekitabo gw'osomedde abantu mu mukono gwo, ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akwata omuzingo mu mukono gwe n'ajja gye baali. 15Ne bamugamba nti, “Tuula obitusomere.” Kale Baluki n'abibasomera. 16Awo olwatuuka bwe baamala okuwulira ebigambo ebyo byonna, ne batunulaganako nga batidde, ne bagamba Baluki nti, “Tetuuleme kubuulira kabaka ebigambo ebyo byonna.” 17Ne babuuza Baluki nti, “Tubuulire nno, wawandiika otya ebigambo ebyo byonna, yali abikusomera?” 18Awo Baluki n'abaddamu nti, “Ye yambuulira ebigambo n'akamwa ke, nange ne mbiwandiika ne bwino mu muzingo.” 19Awo abakungu ne bagamba Baluki nti, “Genda weekweke, ggwe ne Yeremiya; so omuntu yenna aleme okumanya gye muli.”
Kabaka ayokya omuzingo gw'ekitabo
20Awo ne bayingira eri kabaka mu luggya; nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi; ne babuulira kabaka ebigambo byonna. 21Awo kabaka n'atuma Yekudi okukima omuzingo, era n'aguggya mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Awo Yekudi n'agusomera kabaka, n'abakungu be bonna abaayimirira okuliraana kabaka. 22Gwali mwezi gwa mwenda, era kabaka yali atudde mu nnyumba ey'ebiro eby'obutiti nga omuliro guli mu lubumbiro nga gwaka mu maaso ge.#Am 3:15 23Awo olwatuuka Yekudi bwe yamala okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'agusala n'akambe ak'omuwandiisi, n'agusuula mu muliro ogwali mu lubumbiro, omuzingo ne guggiira mu muliro ogwali mu lubumbiro. 24Naye newakubadde Kabaka, wadde omu ku baddu be, abaawulira ebigambo ebyo byonna, tebaatya, so tebaayuza byambalo byabwe.#Yos 7:6 25Newakubadde nga Erunasani ne Deraya ne Gemaliya beegayirira kabaka aleme kwokya muzingo gwa kitabo, naye n'atakkiriza kubawuliriza. 26Awo kabaka n'alagira Yerameeri omwana wa kabaka, ne Seraya mutabani wa Azuliyeeri, ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne Yeremiya nnabbi, naye Mukama n'abakweka.#Yer 45:1-3
Yeremiya awandiika omuzingo gw'ekitabo omulala
27Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya, kabaka ng'amaze okwokya omuzingo okwali ebigambo Baluki bye yawandiika, Yeremiya bye yamubuulira, nga kyogera nti, 28“Ddira nate omuzingo omulala, owandiike omwo ebigambo byonna ebyasooka ebyali mu muzingo ogwolubereberye Yekoyakimu kabaka wa Yuda gw'ayokezza. 29Era ebikwata ku Yekoyakimu kabaka wa Yuda olyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Oyokezza omuzingo guno ng'oyogera nti, Kiki ekikuwandiisizza mugwo ng'oyogera nti, Kabaka w'e Babbulooni talirema kujja n'azikiriza ensi eno, era alimalawo mu nsi omuntu n'ensolo?’”#Yer 26:9 30“Mukama kyava ayogera ebikwata ku Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti ‘Taliba na wa kutuula ku nnamulondo ya Dawudi, n'omulambo gwe gulisuulibwa eri olubugumu emisana n'eri empewo ekiro.#Yer 22:19,30 31Era ndimubonereza n'ezzadde lye n'abaddu be olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndibaleetako, ne bonna ababeera mu Yerusaalemi, ne ku basajja ba Yuda obubi bwonna bwe nnaakaboogerako, naye ne batawulira.’ ” 32Awo Yeremiya n'addira omuzingo ogwokubiri, n'aguwa Baluki omuwandiisi mutabani wa Neriya; ye n'awandiika mu muzingo ng'aggya mu bigambo Yeremiya bye yamubuulira, ebigambo byonna eby'omu kitabo Yekoyakimu kabaka wa Yuda kye yayokya mu muliro; era ne byongerwako ebigambo bingi ebibifaanana.
Currently Selected:
Yeremiya 36: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: