Yeremiya 26
26
Yeremiya awozesebwa
1Mu ntandikwa y'obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, ekigambo kino ne kijja okuva eri Mukama,#2 Bassek 23:36 2“ Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, oyogere n'ebibuga byonna ebya Yuda, abajja okusinziza mu nnyumba ya Mukama, ebigambo byonna bye nkulagira okubagamba; tolekaayo na kimu.#Ma 4:2, Yer 19:14, Ez 3:10 3Mpozzi baliwulira ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nejjuse obubi bwe nteesa okubakola olw'obubi obw'ebikolwa byabwe.#Yer 18:8; 36:3 4Era obagambanga nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutampulirize okutambuliranga mu mateeka gange ge ntadde mu maaso gammwe,#Leev 26:14 5n'okuwulirizanga ebigambo by'abaddu bange bannabbi be mbatumira, awatali kwosa, naye mmwe ne mutawuliriza;#Yer 25:3,4 6kale ndifuula ennyumba eno nga bwe nnakola Siiro, era ndifuula ekibuga kino ekikolimo mu mawanga gonna ag'omu nsi.’ ”#Yer 7:12; 24:9 7Awo bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bawulira nga Yeremiya ng'ayogerera ebigambo ebyo mu nnyumba ya Mukama. 8Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera byonna Mukama bye yali amulagidde okugamba abantu bonna, awo bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bamukwata nga boogera nti, “Tooleme kufa. 9Kiki ekikwogezza mu linnya lya Mukama n'oyogera nti, ‘Ennyumba eno eriba nga Siiro n'ekibuga kino kirifuuka matongo nga tewali muntu akibeeramu?’ ” Abantu bonna ne bakuŋŋaanira awali Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.
10Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebyo, ne bambuka nga bava mu nnyumba ya kabaka, ne bajja mu nnyumba ya Mukama; ne batuula mu ntebe zaabwe awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama.#Yer 36:10,12 11Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti, “Omusajja ono asaanidde okufa; kubanga ayogedde ku kibuga kino, nga bwe muwulidde n'amatu gammwe mmwe.”#Yer 38:4 12Awo Yeremiya n'agamba abakungu bonna n'abantu bonna nti, “Mukama ye yantuma okwogera ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebigambo ebyo byonna bye muwulidde. 13Kale nno mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, mugondere eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe; kale Mukama alikyusa obubi bwonna bw'abalangiriddeko.#Ma 30:2, Yer 7:3 14Naye nze, laba, ndi mu mikono gwammwe, munkole nga bwe musiima era bwe kiri ekirungi era ekituufu gye muli. 15Kyokka mutegeerere ddala nga bwe munanzita muneereetako omusaayi ogutaliiko musango, era ne ku kibuga kino ne ku abo abakibeeramu, kubanga mazima Mukama ye antumye gye muli okwogera ebigambo bino byonna mu matu gammwe.”#Mat 27:24 16Awo abakungu n'abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaanidde kufa; kubanga ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.” 17Awo abamu ku bakadde b'ensi ne basituka ne bagamba ekibiina kyonna eky'abantu nti, 18“Mikaaya Omumolasi yayogerera mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda; n'agamba abantu bonna aba Yuda ng'ayogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, olusozi Sayuuni lulikabalwa ng'ennimiro ne Yerusaalemi kirifuuka bifunvu, n'olusozi okuli ennyumba eno luliba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.’#Mi 3:12 19Keezeekiya kabaka wa Yuda ne Yuda yenna bamutta? Teyatya Mukama ne yeegayirira ekisa kya Mukama, era Mukama teyejjusa obubi bwe yali abalangiriddeko? Naye ffe tugenda okwereetera akabi akanene.”#Kuv 32:14, 2 Byom 32:26, Bik 5:39 20Era waaliwo n'omusajja omulala, Uliya mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyasuyalimu; eyayogerera mu linnya lya Mukama, n'oyo yayogera ku kibuga kino ne ku nsi eno ng'ebigambo byonna ebya Yeremiya bwe bibadde. 21Awo Yekoyakimu kabaka n'abasajja be bonna ab'amaanyi n'abakungu bonna bwe baawulira ebigambo bya Uliya, kabaka n'ayagala okumutta; naye Uliya bwe yakiwulira, n'atya n'addukira e Misiri. 22Yekoyakimu kabaka n'atuma Erunasani mutabani wa Akubooli, n'abantu abalala, e Misiri,#2 Bassek 22:12,14, Yer 36:12 23ne bakimayo Uliya mu Misiri, ne bamuleeta eri Yekoyakimu kabaka; n'amutta n'ekitala, n'asuula omulambo gwe mu malaalo g'abakopi.#Nek 9:26, Yer 22:17, Mat 21:35 24Naye omukono gwa Akikamu mutabani wa Safani, ne guba wamu ne Yeremiya baleme okumuwaayo mu mikono gy'abantu okumutta.
Currently Selected:
Yeremiya 26: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: