Yeremiya 23
23
Essuubi mu kiseera ekijja
1“Zisanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange!” Bw'ayogera Mukama.#Is 65:11, Yer 10:21; 25:34, Ez 34:2, Zek 11:17, Yok 10:12,13 2N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, ebikwata ku basumba abaliisa abantu bange nti, “Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama.#Yer 4:4 3Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala ne beeyongera.#Zab 107:3, Yer 29:14; 32:37, Ez 34:11-16; 37:21 4Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa, kale nga tebakyabatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba n'omu alibula,” bw'ayogera Mukama.#Yer 3:15
5“Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndirosa eri Dawudi Ettabi ettuukirivu, era alifuga nga ye kabaka, era alikola eby'amagezi, era alisala emisango n'obwenkanya n'obutuukirivu mu nsi.#Is 4:2; 11:1; 32:1, Yer 30:9; 33:15-16, Ez 37:24, Kos 3:5, Zek 9:9, Mat 2:2 6Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mu mirembe. Era lino lye linnya lye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.”#Zek 14:11, Bar 10:4, 1 Kol 1:30 7“N'olwekyo laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, nga abasajja tebakyayogera nate nti, Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;#Yer 16:14 8naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiikakkono ne mu nsi zonna gye yabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo.”
Bannabbi ab'obulimba
9Ebikwata ku bannabbi; omutima gwange gumenyese munda yange, amagumba gange gonna gakankana; nninga omutamiivu, era ng'omuntu awanguddwa omwenge; ku lwa Mukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu.#Kaab 3:16 10Kubanga ensi ejjudde abenzi; olw'ekikolimo kino ensi ekungubaga, era n'amalundiro ag'omu ddungu gakaze. Entambula yaabwe mbi, n'amaanyi gaabwe si malungi.#Zab 10:7, Yer 4:28; 5:7,8; 9:10; 22:17, Kos 4:2,3 11“Kubanga nnabbi era ne kabona boonoonefu; weewaawo, ndabye ebibi bye bakola mu nnyumba yange,” bw'ayogera Mukama.#Yer 6:13; 7:30, Ez 23:39, Zef 3:4 12N'olwekyo amakubo gaabwe galiba gyebali ng'obukubo obw'obuseerezi mu kizikiza, omwo mwe balisindikibwa era mwebaligwira; kubanga ndibaleetako obubi mu mwaka mwe balibonererezebwa, bw'ayogera Mukama.#Zab 35:6, Nge 4:19, Yer 11:23; 13:16 13Era ndabye obusirusiru ku bannabbi ab'e Samaliya; boogera mu linnya lya Baali ne bakyamya abantu bange Isiraeri.#Is 9:16, Yer 2:8, Ez 16:46, Kos 7:1 14Era ndabye ekigambo eky'ekivve ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne bawagira abo abakola ebibi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe, bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga abe Ggomola.#Is 1:9,10, Yer 29:23, Ez 13:22
15N'olwekyo Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebikwata ku bannabbi nti, “Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa, kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna.”#Yer 8:14; 9:15 16Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi ababagamba ebigambo; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa, boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so tekuvudde mu kamwa ka Mukama.#Kubal 16:28 17Bagamba abo abannyooma olutata nti, Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; era neri buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira.”#Yer 5:12; 6:14, Mi 3:11 18Kubanga ani ku bo eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere era awulire ekigambo kye? Ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira?#Is 40:14 19Laba, kibuyaga wa Mukama! Ekiruyi kye kifulumye, kibuyaga w'akazimu, akuntira ku mutwe gw'ababi.#Yer 25:32 20Obusungu bwa Mukama tebulikka okutuusa lw'alimala okutuukiriza, n'okukomekkereza omutima gwe bye gumaliridde okukola, mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala.#Is 55:11 21“Saatuma bannabbi abo, naye ne badduka mbiro ne bagenda n'obubaka, ssaayogera nabo, naye ne boogera mu linnya lyange.#Yer 14:14 22Naye singa baayimirira mu kuteesa kwange, kale bandirangiridde ebigambo byange eri abantu bange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi, n'ebikolwa byabwe ebibi.”#Yer 25:5, Luk 1:17 23“ Nze ndi Katonda ali okumpi, bw'ayogera Mukama, so siri Katonda ali ewala.#Zab 94:7,9; 139:7-12 24Waliwo ayinza okwekweka mu bifo eby'ekyama ne simulaba? Sijjula ggulu n'ensi? Bw'ayogera Mukama.#Is 66:1, Am 9:2,3 25Mpulidde bannabbi bye boogedde, aboogera eby'obulimba mu linnya lyange, nga boogera nti, Ndoose, ndoose!#Zek 10:2 26Bulituusa wa obulimba mu mitima gya bannabbi aboogera eby'obulimba; era aboogera ebikyamu bye bagunja mu mutima gwabwe bo? 27Era balowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe, buli muntu byabuulira munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali.#Balam 3:7; 8:33,34 28Nnabbi aloota ekirooto alootoolorenga ekirooto, n'oyo afunye ekigambo kyange akyogerenga n'obwesigwa. Ebisusunku birina kye bifaananya n'eŋŋaano?” Bw'ayogera Mukama.#Kubal 12:6, Luk 3:17 29Ekigambo kyange tekifaanana muliro? Bw'ayogera Mukama; era tekifaanana ne nnyondo eyasaayasa olwazi?
30“Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne.#Ez 13:8 31Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti, Mukama ayogera. 32Laba, ndi mulabe w'abo aboogera ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu, naye nga saabatuma so saabalagira; era tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama.”#Yer 14:14
Omugugu gwa Mukama
33“Singa omu ku bantu bano, oba nnabbi, oba kabona bwe balikubuuza nga boogera nti,‘ Omugugu gwa Mukama kye ki?’ Kale n'obagamba nti, ‘Ggwe mugugu eri Mukama era agenda kukusuula eri!’ bw'ayogera Mukama.#Kung 2:14, Ez 14:1-3, Kos 4:6, Mal 1:1 34Era ku bannabbi, oba kabona, oba omuntu omulala yenna alyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye. 35Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne, na buli muntu muganda we nti, ‘Mukama azzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’ 36Naye ‘Omugugu gwa Mukama,’ temuddangayo okugwogerako nate, kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwannyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye, era Katonda waffe.#Mat 15:6 37Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti, ‘Mukama akuzzeemu ki?’ Era nti, ‘Mukama ayogedde ki?’ 38Naye bwe mulyogera nti, ‘Omugugu gwa Mukama;’ Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga mwogera ekigambo ekyo nti, ‘Omugugu gwa Mukama,’ nange mbatumidde nga njogera nti, ‘Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama;’ 39n'olwekyo, laba, ndibasitula era n'embasulira ddala okuva mu maaso gange, mmwe era n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe, 40era ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo n'ensonyi, n'okunyoomebwa ebitalivaawo ebitalyerabirwa.”#Yer 20:11
Currently Selected:
Yeremiya 23: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: