Isaaya 41
41
1Musirike mu maaso gange, mmwe ebizinga,
amawanga gaddemu obuggya amaanyi gaabwe;
basembere; balyoke boogere;
tusembere wamu eri omusango.#Kaab 2:20
2Ani ayimusizza omuntu ava ebuvanjuba,
gw'ayita mu butuukirivu okujja ku kigere kye?
agaba amawanga mu maaso ge,
era amufuza bakabaka;
abawa ekitala kye ng'enfuufu,
ng'ebisasiro ebikuŋŋunsibwa eri omutego gwe.#2 Byom 36:23, Is 45:1; 46:11
3Abagoba n'ayitawo mirembe;
ayita mu kkubo ly'atayitangamu n'ebigere bye.
4Ani eyakireeta eyakikola,
ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow'olubereberye
era ow'enkomerero, nze wuuyo.#Is 44:6, Kub 1:17; 22:13
5Ebizinga byalaba ne bitya;
enkomerero z'ensi zaakankana;
baasembera ne bajja.
6Baayamba buli muntu muliraanwa we;
buli muntu n'agamba muganda we nti, “Guma omwoyo.”
7Awo omubazzi n'agumya omwoyo omuweesi wa zaabu,
n'oyo ayoyoota n'akayondo n'agumya oyo akuba ku luyijja,
ng'ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Kirungi;”
n'akikomerera n'enninga kireme okusagaasagana.#Is 40:19,20
8Naye ggwe, Isiraeri, omuddu wange,
Yakobo gwe nnalonda,
ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange;#Ma 14:2, 2 Byom 20:7, Zab 135:4, Is 44:1,2, Yak 2:23
9gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi
ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo,
ne nkugamba nti, “ Ggwe muddu wange,
nnakulonda so sikusuulanga;
10totya, kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo,
nnaakuwanga amaanyi; weewaawo, nnaakuyambanga;
weewaawo, nnaakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.#Yos 1:9, Zab 48:10
11Laba, abo bonna abakusunguwalidde
balikwatibwa ensonyi baliswazibwa;
abo abawakana naawe
baliba nga si kintu era balibula.
12Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza;
abo abaakuwanyisanga baliggwaamu ensa.#Zab 37:10
13Kubanga nze Mukama Katonda wo
nnaakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo
nga nkugamba nti, Totya; nze nnaakuyambanga.
14Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo,
nammwe abasajja ba Isiraeri;
nze nnaakuyambanga, bw'ayogera Mukama,
era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo.#Is 43:14; 54:5
15Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula
ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo;
ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala,
n'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku.#Mi 4:13
16Oliziwujja, empewo n'ezifuumuula,
embuyaga ez'akazimu ne zizisaasaanya;
naawe olisanyukira Mukama,
olyenyumiririza mu Mutukuvu wa Isiraeri.#Yer 51:2
17Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi
so nga tewali,
olulimi lwabwe ne lulakasira;
nze Mukama ndibaddamu,
nze Katonda wa Isiraeri siribaleka.#Zab 107:35, Is 35:6,7; 44:3
18Ndizibikula emigga ku busozi obutaliko kantu,
n'ensulo wakati mu biwonvu;
ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi,
n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi.
19Ndisimba mu lukoola omuvule
n'omusita n'omumwanyi n'omuzeyituuni;
nditeeka mu ddungu enfugo
n'omuyovu ne namukago wamu;#Is 35:1,2; 55:13; 60:13
20balabe, bamanye, balowooze,
bategeere wamu
ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,
era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze.#Yob 12:9
21Muleete ensonga yammwe, bw'ayogera Mukama;
mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo.
22Bazireete, batubuulire ebigenda okubaawo;
mubuulire ebyasooka okubaawo bwe biri,
tubirowooze tutegeere enkomerero yaabyo ey'oluvannyuma;
oba mutulage ebigenda okujja.#Is 44:7; 45:21; 46:10
23Mubuulire ebigambo ebijja okubaawo oluvannyuma,
tulyoke tutegeere nga muli bakatonda; weewaawo,
mukole obulungi oba mukole obubi
tukeŋŋentererwe tukirabire wamu.#Is 45:7, Is 48:11
24Laba, temuliiko gye muva,
so n'omulimu gwammwe teguliiko gye guva;
oyo abalonda wa muzizo.#Zab 115:8, 1 Kol 8:4
25Nnyimusizza omuntu ava obukiikakkono era atuuse;
okuva ebuvanjuba omuntu ayita erinnya lyange;
Alirinnyirira abafuzi ng'asamba ettaka,
era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba.#Zab 44:5, Yer 50:3
26Ani eyakibuulira okuva ku lubereberye tulyoke tumanye?
era mu biro eby'edda tulyoke twogere nti, Mutuufu?
Tewali n'omu yakyogerako, tewali n'omu yakimanya,
weewaawo, tewali awulira ebigambo byammwe.
27Ndisooka okugamba Sayuuni nti Balabe, balabe;
era ndiwa Yerusaalemi omuntu aleeta ebigambo ebirungi.#Is 40:9
28Era bwe ntunula, tewali muntu;
mu bo bennyini temuli ateesa ebigambo,
ayinza okwanukula ekigambo bwe mbabuuza.
29Laba, bo bonna temuli nsa!
Bye bakola byonna tebigasa.
ebifaananyi byabwe ebyole mpewo na kwetabula.”
Currently Selected:
Isaaya 41: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.