Isaaya 38
38
Keezeekiya asumatuka okufa
1 #
2 Bassek 20:1-11
Mu nnaku ezo Keezeekiya n'alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa, so togenda kulama.”#2 Byom 32:24 2Awo Keezeekiya n'akyuka n'atunuulira ekisenge ne yeegayirira Mukama n'ayogera nti, 3“Jjukira kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi.” Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.#2 Bassek 18:5,6 4Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya nti 5“Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go, laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano (15). 6Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli, era ndirwanirira ekibuga kino.#Is 37:35 7Era kano ke kanaaba akabonero k'onoofuna okuva eri Mukama nga Mukama alikola ekigambo kino ky'ayogedde.#2 Bassek 20:9-11 8Laba, nzijja kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi (10) enjuba bw'eneeba egwa, ky'eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw'etyo enjuba n'edda emabega amadaala kkumi (10) ku madaala ge yali ekkiddeko.
9Ekiwandiiko kya Keezeekiya kabaka wa Yuda, kye yawandiika nga awonye obulwadde.
10N'ayogera nti, “Mu ttuntu ly'ennaku zange
mwe ndigendera mu miryango gy'emagombe,
Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo.#Zab 102:24
11N'ayogera nti, Siriraba Mukama,
mu nsi y'abalamu.
Siriraba bantu nate mu nsi mwe batuula.#Zab 27:13; 31:22
12Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako
ng'eweema ey'omusumba;
Nzinze obulamu bwange ng'omulusi w'engoye;
alinsala ku muti ogulukirwako:
Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.#Yob 4:20; 6:9; 7:6, 2 Kol 5:1
13Nkabira obuyambi okukeesa obudde,
ng'empologoma, bw'amenya bw'atyo amagumba gange gonna;
Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
14Ng'akataayi oba ssekanyolya, bwe ntyo bwe nnawanjaga;
Nnempuubaala nga kaamukuukulu;
amaaso gange gafuuyirira olw'okulalama;
Ayi Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange.#Zab 69:3, Is 59:11
15Naayogera ntya? Yayogedde nange
era ye yennyini ye akikoze:
Nnaatambulanga mpola emyaka gyange gyonna
olw'okubalagalwa kw'obulamu bwange.
16Ayi Mukama, olw'ebyo abantu baba balamu,
Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw'omwoyo gwange;
Kale mponya onnamye.
17Laba, olw'emirembe gyange
kyennava mbalagalwa ennyo;
Naye ggwe olw'okwagala obulamu bwange obuwonyezza
mu bunnya obuvundirwamu;
Kubanga osudde ebibi byange byonna
emabega wange.#Zab 6:5; 88:10, Mub 9:10
18Kubanga amagombe tegayinza kukutendereza,
okufa tukuyinza kukusuuta
Abo abakka mu bunnya tebayinza
kusuubira mazima go.
19Omulamu, omulamu ye alikutendereza
nga nze bwe nkola leero
Kitaabwe alitegeeza abaana amazima go.#Ma 4:9, Zab 78:3,4
20Mukama yeeteeseteese okundokola,
Kyetunaavanga tuyimbira ku bivuga eby'enkoba
Ennaku zonna ez'obulamu bwaffe
mu nnyumba ya Mukama.”
21Era Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky'ettiini bakisiige ku jjute, awone.” 22Ne Keezeekiya yali abuuzizza nti, “ Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne nyambuka mu nnyumba ya Mukama?”
Currently Selected:
Isaaya 38: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: