Isaaya 36
36
Ebyafaayo ku kabaka Keezeekiya
(36:1—39:8)
Keezeekiya okuwangula Bwasuli
1Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ogw'obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n'abiwamba.#2 Byom 32:1 2Awo kabaka w'e Bwasuli n'asindika Labusake okuva e Lakisi okugenda e Yerusaalemi eri kabaka Keezeekiya ng'alina eggye eddene. N'ayimirira ku mabbali g'omukutu gw'amazzi omunene eky'engulu ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi.#2 Byom 32:9, Is 7:3 3Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali omukulu w'ennyumba, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bafuluma okumusisinkana. 4Labusake n'abagamba nti Mugambe kaakano Keezeekiya nti, “Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli, nti Kiki kye weesiga? 5Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n'amagezi okuwangula olutalo? Ani nno gwe weesiga olyoke onjemere? 6Laba, weesigamye ku Misiri, omuggo ogw'olumuli olubetentefu, omuntu bwa gwesigamako gumuyingira mu ngalo ze ne guzifumita: bw'atyo bw'abeera Falaawo kabaka w'e Misiri eri abo bonna abamwesiga.”#Ez 29:6,7 7Naye bw'onoŋŋamba nti, “Twesiga Mukama Katonda waffe, si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino?#2 Byom 18:4 8Kale nno kaakano, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli nange nnaakuwa embalaasi enkumi bbiri (2,000), bw'obanga ddala olina abanaazeebagala. 9Oyinza otya okuwangula omuduumizi asembayo obunafu mu ggye lyaffe, ne bwe weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi?#Is 31:1 10Era kaakano nnyambuse okutabaala ensi eno okugizikiriza awatali Mukama? Mukama yaŋŋamba nti Yambuka otabaale ensi eno ogizikirize.”#Is 10:5,6
11Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti “Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulumanyi, so toyogera naffe mu lulimi Oluyudaaya nga abantu abali ku bbugwe bawulira.”#Ezer 4:7 12Naye Labusake n'ayogera nti, “ Olowooza Mukama wange antumye eri mukama wo n'eri ggwe okwogera ebigambo bino? Tantumye eri abantu abatuula ku bbugwe, abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n'okunywa omusulo gwabwe?” 13Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddene mu lulimi Oluyudaaya n'ayogera nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w'e Bwasuli. 14Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimba, kubanga taliyinza kubawonya;#Is 37:10 15Keezeekiya tabasigula ng'abagamba nti, ‘Mukama talirema kutuwonya; ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.’ 16Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti, Mutabagane nange, mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lwalirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli muntu alinywa ku mazzi ag'omu kidiba kye ye, 17okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku z'emizabbibu.#2 Bassek 18:11 18Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng'ayogera nti, Mukama alituwonya. Waliwo katonda yenna ow'amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli? 19Bali ludda wa bakatonda ab'e Kamasi n'e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab'e Sefavayimu? Baawonya Samaliya mu mukono gwange? 20Baani ku bakatonda bonna ab'ensi ezo abaawonya ensi zaabwe mu mukono gwange, olwo Mukama alyoke awonye Yerusaalemi mu mukono gwange?”#2 Byom 32:15 21Naye bo ne basirika ne batamwanukula kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kiti nti, “ Temumwanukulanga.” 22Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.#Is 33:7
Currently Selected:
Isaaya 36: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: