Isaaya 31
31
1Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa,
era abeesiga embalaasi;
era abeesiga amagaali kubanga mangi,
n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi;
naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri
oba okwebuuza ku Mukama!#Zab 20:7, Is 1:4; 30:2; 36:9
2Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi,
so talikomyawo bigambo bye,
naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi
ne ku bayambi baabo abakola ebitali bya butuukirivu.
3Abamisiri bantu buntu, so si Katonda;
n'embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo.
era Mukama bw'aligolola omukono gwe,
oyo ayamba alyesittala era n'oyo ayambwa aligwa,
kale bombi balizikiririra wamu.#Yer 17:5
4Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋamba nti,
Ng'empologoma oba empologoma ento bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo,
n'abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba,
teritiisibwa na ddoboozi lyabwe,
oba okukangibwa oluyoogaano lwabwe,
bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka
okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako.
5Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye
bw'anaakuumanga Yerusaalemi;
anaakikuumanga n'akinunula,
alikitaliza n'akiwonya.#Zab 91:4
6Mukyukire oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isiraeri.#Is 1:5; 30:15 7Kubanga ku lunaku luli buli omu alisuulira ddala ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi.#Is 30:22
8Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali ky'abantu;
n'ekitala ekitali ky'abantu kirimulya,
era alidduka ekitala,
n'abavubuka be balikozesebwa emirimu egy'obuwaze.#2 Bassek 19:35
9N'olwazi lwe lulivaawo olw'okutya,
n'abaduumizi baabwe baliduma ne baleka awo bendera y'olutalo,
bw'ayogera Mukama, omuliro gwe guli mu Sayuuni
n'ekikoomi kye kiri mu Yerusaalemi.#Ma 32:31, Is 11:10; 30:33
Currently Selected:
Isaaya 31: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: