YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 24

24
Obunnabbi ku lunaku lwa Mukama
(24:1—27:13)
1Laba, Mukama alifuula ensi amatongo, agimalirewo ddala,
era aligivuunika, n'asaasaanyiza ddala abagituulamu.
2Era olulituuka ng'abantu bwe baliba, bw'atyo kabona bw'aliba;
ng'omuddu bw'aliba, bw'atyo mukama we bw'aliba;
ng'omuzaana bw'aliba, bw'atyo mugole we bw'aliba;
ng'omuguzi bw'aliba, bw'atyo omutunzi bw'aliba;
ng'awola bw'aliba, bw'atyo eyeewola bw'aliba;
ng'aweebwa amagoba bw'aliba, bw'atyo amuwa amagoba bw'aliba.#Ez 7:12, Kos 4:9
3Ensi erimalirwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala;
kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo.#Is 1:20
4Ensi ewuubaala era neekala,
ettaka liggwaamu amaanyi era likala,
abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi.#Kos 4:3
5Era ensi eyonooneddwa,
abantu baayo abagituulamu;
kubanga basobezza amateeka,
ne bawaanyisa ekiragiro,
ne bamenya endagaano eteriggwaawo.#Leev 26:15, Kubal 35:33, Is 2:6,8
6Ekikolimo kyekyava kirya ensi,
n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze,
abatuula mu nsi kyebaava bookebwa,
abantu ne basigala batono.#Dan 9:11, Zek 5:3,4, Mal 2:2
7Omwenge omusu guwuubaala,
omuzabbibu guyongobera,
bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe.
8Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma,
oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo,
essanyu ery'ennanga likoma.#Yer 7:34
9Tebalinywa mwenge nga bayimba;
ekitamiiza kirikaayirira abo abakinywa.
10Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese,
buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu.
11Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge;
essanyu lyonna liweddewo,
ekinyumu eky'ensi kigenze.#Yo 1:5,12
12Ekibuga kisigadde kuzika,
wankaaki waakyo akubiddwa n'amenyebwamenyebwa.
13Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi
mu mawanga,
nga bwe bakuba omuzeyituuni,
nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde.#Is 17:6
14Bano baliyimusa amaloboozi gaabwe, n'ebayimba olw'essanyu,
olw'obukulu bwa Mukama nga batendereza okuva mu bugwanjuba.
15Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba,
erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja.#Is 45:6
16Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi,
ekitiibwa kibeere eri omutuukirivu.
Naye ne njogera nti, “Nkoozimba,
nkoozimba, zinsanze!
abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza;
weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo.”#Is 21:2; 26:2
17Entiisa n'obunnya n'omutego
biri ku ggwe, ggwe atuula mu nsi.#Lub 7:11, Zab 18:7, Yer 48:43,44
18Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa
aligwa mu bunnya;
n'oyo alinnya okuva mu bunnya
omutego gulimukwata:
kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo,
n'emisingi gy'ensi gikankana.
19Ensi emenyekedde ddala,
ensi esaanuukidde ddala,
ensi ejjulukuse nnyo.
20Ensi eritagatta ng'omutamiivu,
era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira;
n'okusobya kwayo kuligizitoowerera,
era erigwa n'etegolokoka nate.#Is 24:5,6; 29:9
21Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alibonereza
eggye ery'abagulumivu waggulu,
ne bakabaka ab'ensi ku nsi.#Zab 76:12, Is 10:12
22Era balikuŋŋaanyizibwa wamu
ng'abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya,
era balisibirwa mu kkomera,
era alibeerayo okumala ennaku.#Mi 4:11,12
23Kale omwezi, gulikwatibwa ensonyi,
n'enjuba eriswala;
kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa.#Is 13:10, Mi 4:7

Currently Selected:

Isaaya 24: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in